TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro agenda kusisinkana Kiyimba Freeman ne Butebi mu kaweefube okugonjoola obutakkaanya

Katikkiro agenda kusisinkana Kiyimba Freeman ne Butebi mu kaweefube okugonjoola obutakkaanya

Added 22nd January 2019

Katikkiro agenda kusisinkana Kiyimba Freeman ne Butebi mu kaweefube okugonjoola obutakkaanya

 Omwogezi w'obwa Kabaka Noah Kiyimba ng'annyonnyola ku nteekateeka ya Katikkiro okusisinka abakungu ba Kabaka

Omwogezi w'obwa Kabaka Noah Kiyimba ng'annyonnyola ku nteekateeka ya Katikkiro okusisinka abakungu ba Kabaka

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agenda kusisinkana abagagga b'e Mityana- Ssingo abali mu kugugulana ensangi zino ekintu kyagamba nti tekiwa kifaananyi kirungi naddala nga Kabaka ayagala abantu be okubeera obumu.

Eggulo Omwogezi w'Obwakabaka era Minisita w'amawulire e Mmengo, Noah Kiyimba yategeezezza nti Katikkiro yategedde okusajjuka kw'entegeragana wakati w'abakungu ba Kabaka, John Fred Kiyimba Freeman nga ye Ssentebe w'olukiiko lwa Buganda Twezimbe ne Emmanuel Ssembusi Butebi ng'ono mmemba ku lukiiko luno, nabakubira okwongera okumanya ebyayongedde okubatabula.

"Katikkiro asazeewo okuyita abakungu bano okubataataganya kubanga si kirungi abantu abakulu eggwanga beribadde liwa ekitiibwa okweyuzayuza mu lujjudde bwebati. Obutasukka nnaku bbiri agenda kuba abasisinkanye okugonjoola ensonga eno," Kiyimba bweyategezezza.

Minisita Kiyimba yayongedde n'ategeeza nti Obwakabaka bwagala okulaba ng'abantu baabwo babeera bumu ng'abakulembeze bwebatandika okweyuzayuza kibeera kitiisa n'ategeeza olw'obutayagala mbeera efanana bweti, Kabaka kyeyava asiima n'atongoza engoma Buganda Bumu mu 2011.

"Nsaba Obuganda bubeere bukakkamu n'obutatwalirizibwa embeera eno. Bwetuba bakuzimba Obuganda tulina okubeera obumu nga tetwerumaluma ng'Obwana bw'enjala," Kiyimba bweyagaseeko.

Kiyimba yagambye nti alina essuubi nti ekya Katikkiro okusisinkana abakulu bano kyakwongera okuleetawo embeera ey'okutegeragana wakati waabwe n'abantu enkumu ababawuliriramu ate n'olwokusobozesa emirimu gyebakolera Obuganda okugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...