TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyabaddewo nga Lwakataka azzibwa mu komera e Kauga

Ebyabaddewo nga Lwakataka azzibwa mu komera e Kauga

Added 22nd January 2019

Ebyabaddewo nga Lwakataka azzibwa mu komera e Kauga

OMUVUZI w'emmotoka z'empaka, Ponsiano Lwakataka (42) azziddwa mu kkomera e Kauga oluvannyuma lw'akulira abalamuzi abato mu kkooti e Mukono, Juliet Hatanga okugaana okusaba kwe okw'okweyimirirwa.

Lwakataka avunaanibwa ne John Ssekitoleko (47) omutuuze w'e Rubaga mu kibuga Kampala nga bagasimbaganye n'omulamuzi Hatanga sso nga babadde bakiikiriddwa munnamateeka Samuel Eyotre ng'ate oludda lwa gavumenti lukiikiriddwa omuwaabi wa gavumenti Agnes Kiconco.

Lwakataka ne Ssekitooleko basomeddwa emisango ebiri okuli ogw'okusaalimbira ku ttaka eriri ku Block 111 plot 4918 ne 4917 erisangibwa ku kyalo Kiwanga-Lwanda mu divizoni y'e Goma mu munisipaali y'e Mukono ate omulala gwe gw'okwonoona ebintu bya George William Kawooya okwali n'ekisenge ky'ekikomera nga gino baagizza nga
12/1/2019.

Wabula abawawaabirwa omusango bagwegaanye olwo nga bayita mu munnamateeka waabwe, Eyotre, Lwakataka ne Ssekitoleko baasabye okweyimirirwa nga bawa ensonga omuli okuba nga balina ebirwadde ebyetaaga okulaba abasawo.

Eyotre awaddeyo abantu basatu okweyimirira Lwakataka okuli bakyala be babiri; Rose Nassonko (42) ne Ruth Namyalo ssaako Antony Kaggwa nga ne ku Ssekitoleko naye yawaddeyo 3. Wabula omuwaabi wa gavumenti bano abakubyemu ebituli n'asaba omulamuzi aleme kulowooza ku kyakubeeyimirira.

Omulamuzi ng'awa ensalaye ategeezezza nti wadde nga teri tteeka likugira muntu kuwaayo bakyalabe ng'abamweyimirira, abakyala ba Lwakataka abeekenneenyezza n'akizuula nga tebasaanidde olw'ensonga nti ssinga aba agaanye okuddayo mu kkooti tebalina busobozi bumuwaliriza kugenda kweyanjula nga kkooti bw'eba yamusaba.

Ku ludda lwa Ssekitoleko, kkooti ekizudde ng'omu ku baawaddeyo okumweyimirira abadde n'ebiwandiiko bibiri ebiriko amannya ag'enjawulo okuli endagamuntu ng'eraga Abby Kabuuka sso ng'ate ebbaluwa gye yafunye okuva ewa ssentebe w'ekyalo ebadde emulaga nga Abby Kibuuka.

Omulamuzi ayongezzaayo omusango okutuuka nga February 4, n'abasindika ku limanda mu kkomera e Kauga gye bagenda okugira nga beebase okutuuka ku lunaku olwo.
Bano abasabye okufuna ababeeyimirira abalala era nga bwe baba tebamatidde na nsalaye bajulire mu kkooti enkulu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...