TOP

Be nnasanga mu ndongo bantwalira omugole

Added 23rd January 2019

NZE Ronald Kulabiraawo 23, mbeera Naalyankanja mu Mityana. Bwe nnali nkyalina emyaka 20, nafuna omuwala gwe nnayagala okuzaama ng’abeera Namutamba mu Mityana era ebiseera ebyo, ye yalina emyaka 18.

Okumanya n'ayagala omuwala ono, namuwasa n'okumuwasa lwakuba ebbanga lyali ttono ddala olw'emize gye anti twamala emyezi ebiri gyokka ne twawukana.

Ekyasinga okuvaako obuzibu kwe kusisinkana omuwala ono gwe nnali naakaleeta nga nkyamuyita na mugole ng'ate ali n'omusajja omulala nga bali mu ndongo bazina.

Engeri gye twali twakeefuna twasalawo okugenda okusanyukamu mu kidongo ekyali okumpi ku kyalo kyokka eky'ennaku bwe twatuukayo, omuwala ono yadda mu kuzina na basajja balala era ebyange teyaddamu kumanya.

Omuwala ono nange yankwasa obusungu ne nsalawo munenyeeko kyokka bwe nnamugambako yaηηamba kimu nti mwesonyiwe mmuveeko era ewange teyadda. Kino kyasooka kumbeerera kizibu kubanga nange nali mmwagala.

Kyokka oluvannyuma namala ne nzikiriza mwesonyiwe kubanga natya ng'ayinza okumpangira abayaaye ne bantusaako obulabe nange awo kwe kumwesonyiwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...