TOP

Omusirikale amenye omwana mu kanyolagano

Added 23rd January 2019

Omusirikale amenye omwana mu kanyolagano

By Joseph Zziwa

OMUSERIKALE wa Poliisi amenye omwana omukono bw'abadde alwanagana ne nnyina ng'amukwata ogwa kireereese.

Allen Mirembe omutuuze mu zooni ya Kabaawo e Mutundwe mu Divizoni ya Lubaga nga ye maama w'omwana Bernad Kabaale ow'emyezi omwenda,agamba z'abadde ssaawa taano kitundu ez'ekiro ekyakeesezza olunaku lwa Monday omwana we n'afuna omusujja ogw'amaanyi kwekusalawo amudduse mu dwaliro.

Wabula nga yakava ewaka yalengedde abaserikale abaabadde mu kibinja  kya bantu 15 nga kuliko n'abaabadde mu ngoye ezabuliggyo kwossa n'embwa,"mu bano mwavuddemu omuserikale omukyala eyannyambalidde ng'anvunaana gwa kutambula kiro,ono namutegeezezza nga bwentwala omwana mu dwaliro kyokka yanzizeemu nti bino nja kubyogererera mu kaduukulu",Mirembe bweyategeezezza.

Mu kanyolagano kano nga ng'ezaako okudduka yansindise n'omwana wange ne tugwa era bwennasituse nadduse misinde paka mu nju,okutuuka eyo nga omwana akaaba nnyo era ngenda okumukebera nga omukono gulabika gumenyese kwekusaba baliranwa basatu bamperekereko muzzeeyo n'era.

Twabadde tugenda ne tuddamu ne tubasanga kwekusalawo ne ntegeeze omukyala ono nti  kyakoze omwana wange,ono yantegeezezza nga bwennimba nti kyokka ne bwaba nga amenyese ago si mawulire genda bugenzi ojjanjabise omwan wo kuba owuwe  yagwa n'afulumayo n'eggumba naye yawona.

Nga sinnagenda omukyala ono yantegeezazza nti bwemba njagala abantu bange bateebwe nesonyiwe ensonga zino era ngende njijanjabise omwana wange kuba ye atambula na banene nga tewali kyenyinza kumukola

Bweneekubidde enduulu ewa ssentebe waffe Richard Ssendikaddiwa yangambye nti nve mumuzannyo ngenda nzijanjabe omwana wange oluvannyuma tukole kukyo'kuggya bannange mu komera,kwekusalawo okugenda ku dwaliro ekitebi.

Okusinziira ku musawo ku dwaliro lye Kitebi Dr.Nicholas Nsereko eyasoose okwekebeggya omwana ono,yategeezezza nti omwana yetaaga okwanguyirwa amangu kuba omukono gulabika nti gwakyuuse kwossa n'obulumu obwamaanyi mu kifuba engeri gyeyagwiirwa,ono yabasindise e Mengo ew'omusawo w'amagumba asobole okwongera okumwekebeggya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....