TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bishop Sebaggala alabudde abazadde ku masomero gebatwalamu abaana

Bishop Sebaggala alabudde abazadde ku masomero gebatwalamu abaana

Added 23rd January 2019

Bishop Sebaggala alabudde abazadde ku masomero gebatwalamu abaana

OMULABIRIZI w'e Mukono, James William Ssebaggala alabudde abazadde naddala abalina abayizi abaatudde ekibiina ekya P.7 okwegendereza mu kaweefube gwe balimu ow'okunonyeza abaana baabwe amasomero gye banaasomera S.1 n'abo abali mu bibiina ebirala.

Bp. Ssebaggala agamba nti ensangi zino abazadde bafa ku masomero galina bizimbe bya kkalina nga n'ebisale byago biri waggulu ng'ago gye bateeka abaana okusomera ky'agamba nti kino si kituufu.

"Tuwulira abazadde abaabadde n'abayizi abatuula P.7 mu masomero agali mu bibuga agaludde nga geeriisa nkuuli mu kuyisa abayizi kyokka nga ku mulundi guno tekyasobose nga kati bali mu kwemulugunyiza amasomero ago ne UNEB mbu babadde basasula ensimbi nnyingi ate abayizi baabwe ne batayita nga bwe babadde basuubira, nze omusango ngusalira bazadde abo bennyini," Bp. Ssebaggala bwe yategeezezza.

Ku ntandikwa ya ssabbiiti eno, omuwandiisi w'ekitongole ky'ebigezo ekya UNEB, Dan Odong yategeezezza ng'amasomero agekwasa nti baagagolola bubi ne kireetera abayizi baabwe obutakola nga bwe baali basuubira nti ebyo geekwasa bwekwasa era bye googera si bituufu.

Omulabirizi yagambye nti kye kiseera abazadde okutunuulira ebintu ebikulu nga banoonya amasomero omw'okusomeseza abaana baabwe gamba ng'abasomesa abalina obukugu, abalina eddiini era nga batya Katonda olwo nga lwe bayinza okusomesa abayizi ne babateekamu ensa n'amagezi agayita ebigezo.

Okwogera bino, Bp. Ssebaggala yabadde ku ssomero ly'Obulabirizi bw'e Mukono erya Bishop West P/S nga lyebaza Katonda olw'okuyisa obulungi abayizi mu PLE ssaako okukwasa abayizi amabaluwa gaabwe.

Omukulu w'essomero lino Lydia Nakachwa yategeezezza ng'essomero bwe lyatuuza abayizi 22 nga 16 baayitidde mu ddaala lisooka ate 6 ne bayitira mu ddaala ery'okubiri.

Nakachwa yategeezezza nti omuyizi eyasinga mu ssomero lino Margaret Nandawula yafuna obubonero 6. Omulabirizi era yalabudde n'abakulira amasomero g'ekkanisa ssaako abasomesa bulijjo okufuba okweyisa mu nneeyisa eweesa ekkanisa
ekitiibwa nga gwe kinaalema omulimu gwakumufa.

"Tetuyinza kukkiriza mu masomero gaffe bikolwa byabulyake, obuseegu gamba ng'okukabassanya abayizi bye tuwulira mu masomero amalala n'emize emirala agyetabangamu asookanga kusiibula," bwe yalabudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...