TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalongo abaayise P7 bebazizza Bukedde olw'okubafulumiza Pass PLE

Abalongo abaayise P7 bebazizza Bukedde olw'okubafulumiza Pass PLE

Added 24th January 2019

Abalongo abaayise P7 bebazizza Bukedde olw'okubafulumiza Pass PLE

 Charles Walter Mbusa n'abaana be okuli Watson Kato ne Patricia Walter Nyangoma nga bakyaddeko mu pofiisi za Bukedde

Charles Walter Mbusa n'abaana be okuli Watson Kato ne Patricia Walter Nyangoma nga bakyaddeko mu pofiisi za Bukedde

ABALONGO abaayise ebigezo nga beeyambisa obukodyo bwebabadde basoma mu katabo ka PASS PLE akafulumira mu Bukedde buli lwa Mmande, basiimye abakulira olupapula lwa Bukedde ne bagamba nti obuwanguzi bwabwe bwasibuse mu Bukedde.

Watson Kato ne Patricia Walter Nyangoma 14, bawala ba Charles Walter Mbusa ow'e Kasese ebigezo bya PLE, baabiyitidde waggulu ddala era kati besunga kuyingira siniya kyokka obuwanguzi bagamba nti wadde buva eri Katonda, yayitidde mu Bukedde.

Kato yafunye obubonero 6 ate Nyangoma yafunye 11. Babadde basomera ku ssomero lya Ndongo Baptist Primary School ku kyalo Bunyiswa mu ggombolola y'e Bwera mu disitulikiti y'e Kasese.

Kato yagambye nti, okusoma kwe okuva emabega yeyali akulembera banne mu kibiina kyokka ng'afuna obubonero wakati wa 7 ne 10. Agamba nti, PASS PLE yatandika okumukozesa ku ndikwa y'olusoma olwokubiri.

Agamba nti, okuva lweyatandika okukozesa PASS PLE, obubonero bweyali afuna bwakyukamu n'atandika okufuna wakati wa 6 ne 8 era ebigezo by'akamalirizo, yasobodde okubifunamu obubonero 6. Yagaseeko nti, taba kweyambisa PASS PLE, yabadde wakufuna wakati w'obubonero 8 ne 10.

"Nalina obuzibu bw'okubala nga kunsumbuwa naye bwenatandika okukozesa PASS PLE, okutya kwenalina kwanvaamu ebizibu ne bitandika okwanguwa era okubala nakufunyemu kamu." Kato bwe yagambye.

Ayagala kubeera yinginiya kyagamba nti gwemulimu ogw'ekirooto kye oguyinza okubbulula famire ye kubanga teyimiridde bulungi mu by'enfuna.

Nyangoma naye yagambye nti, PASS PLE yatandika okumukozesa mu lusoma olw'okubiri nga lutandika. Yali afuna wakati wa 11 ne 16 mu bigezo bye kyokka yafuna enjawulo ng'atandise okukozesa Pass Ple.

Baasiimye Bukedde okuwa abaana abasoma naddala mu byalo omukisa gw'okuvuganya n'abaana abalala mu masomero g'omu bibuga nga beeyambisa PASS PLE.

Mbusa yagambye nti, tamanyi kusoma Luganda kyokka bweyakizuula nti Bukedde wa Mmande abeeramu PASS PLE, yasalawo okutandika okugula amawulire abaana be basobole okufunamu akatabo ka PASS PLE.

"Abasomesa abateegeka ebibuuzo bya PASS PLE, bali ku mutindo gwa waggulu nnyo muli nayagala abaana bange nabo bafune okumanyiira ku bibuuzo by'abasomesa abakugu baleme kutuuka mu bigezo babitye." Mbusa bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu