TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kiikino ekitabula Butebi ne FreemanFreemanButebi

Kiikino ekitabula Butebi ne FreemanFreemanButebi

Added 24th January 2019

Kiikino ekitabula Butebi ne FreemanFreemanButebi

 Mutebi ku kkono ne Kiyimba Freeman ku ddyo

Mutebi ku kkono ne Kiyimba Freeman ku ddyo

OMUGAGGA Emmanuel Sembuusi Butebi ne basuubuzi banne omusanvu bwe bavunaanibwa ogw'okutiisatiisa omusuubuzi Freeman Kiyimba eggulo bazzeeyo ku poliisi ya CPS ne beeyanjula nga bwe baalagirwa.

Kyokka olugendo lwabamenyedde bwereere kuba baabadde basuubira okusisinkana Freeman ne munnamateeka we abataalabiseeko. Baalagiddwa okuddayo Olwokuna lwa wiiki ejja, kyokka ne baweebwa amagezi okukozesa amakubo g'okukkaanya okusobola okumalawo obutakkaanya obuliwo.

Butebi baasooka kuyitibwa ku Mmande ku CPS era baamala olunaku lulamba nga babaggyako sitatimenti era baabulako katono okusula mu kaduukulu. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga eyabadde asuubirwa okutabaganya Butebi ne Freeman teyasobodde kubasisinkana, kyokka ng'entegeka zikolebwa okubasisinkana ekiseera kyonna era nga yabasabye ensonga okugira nga baziggyamu poliisi.

BUTEBI NE FREEMAN ANI AYOGERA EKITUUFU KU BY'OBUDUUKA?

Eby'abagagga Emmanuel Ssembuusi Butebi ne Freeman Kiyimba ku by'okugabana amaduuka ku bizimbe ebiri ku ppaaka ya takisi empya bibuzaabuza. Butebi alumiriza nga bw'akyabanja amaduuka ge, kyokka ne Freeman alumiriza nti, alina nsonga ze ndala kuba amaduuka ge gaamuweebwa dda talina kyabanja.

Abakulembeze ba 'New Park Lock Up Owners Association' abakulemberwa Kiyimba bagamba nti, Butebi yandiba ng'aliko birala bye yeenoonyeza. John Rogers Tusingize, amyuka ssentebe alumirizza Butebi obutaba mwesimbu ku nsonga z'amaduuka n'agamba nti amaduuka g'akaayanira baamuweerako dda ebyapa era talina kyabanja. Yagambye nti omulimu gw'okuzimba amaduuka gwatandika mu 2006 nga basaba KCC okubawa obuyinza obuddukanya ettaka kwe baali bakolera.

Abantu bonna baawandiisibwa abaali ku ttaka nga bawera 1,200 era ng'ettaka baalisasulira obuwumbi bubiri n'ekitundu. Buli musuubuzi yasasula 500,000/- ez'obwammemba kuno kwe baagatta n'okusasula ssente endala nga bagoba okufuna liizi. Edduuka eddene lyali lisasula obukadde butaano ate ettono obukadde busatu.

Abasuubuzi abamu beesanga nga tebakyalina ssente zisasula kusukka mitwalo 50 era bakkirizibwa okufuna abaguzi ne batunda emigabo gyabwe. Bwe baatandika okuzimba mu 2013 baasalawo okuddamu okusasulira buli dduuka ng'ebbeeyi yali esinziira ku mwaliiro. Amadduuka agaali wansi nga gasasula obukadde 53 buli limu, omwaliiro oguddako bukadde 43 ate amalala nga ga bukadde 42.

Kyokka abasuubuzi abamu abaali tebalina ssente za buliwo bakkiriza ne beewola mu bbanka, kyokka nga ssente zino zirina okujjirako amagoba. Omuntu gy'akoma okuzeewola okumala ebbanga eddene ne z'azzaayo gye zikoma okuba ennyingi.

BUTEBI AYINGIRAMU ATYA? Tusingize yagambye nti Butebi si y'omu ku basuubuzi abaasooka mu kifo, kyokka yasobola okubeegattako oluvannyuma lw'okugula emigabo gyabwe nga balemereddwa okufuna ssente z'okuzimba.

Butebi yalina okufuna obuduuka 21 bw'aba ng'abusasulidde. Kyokka enteekateeka ziba zitandise ez'okuzimba Butebi n'atandika okukuma mu basuubuzi omuliro ng'awakanya eby'okuzimba era ssente ze yali okusasula teyazimalaayo.

Tusingire yalaze lisiiti eziraga nti Butebi yakoma okusasula mu 2015 era nga mu kiseera ekyo yali yaakasasula akawumbi kamu n'obukadde 49. Mu kiseera ekizimbe ekyasooka we baakimalira nga Butebi tannaba wadde okumaliriza okusasula ssente z'akaduuka akamu, kuba ssente yali azisasuddeko bitundu.

Mu mbeera eno tewali ngeri gye yali ayinza kufuna dduuka kuba baali baakikkaanyaako nti abanaasooka okumalayo okusasula be baali ab'okusooka okufuna amaduuka. Butebi bw'amala okulemwa okusasula ssente ezaali zisigaddeyo yasaba ssente ze yali asasuddeko zigattibwe n'oluvannyuma babalemu omuwendo gw'amaduuka agagyamu.

Ssente bwe baazigatatta ne bagabizaamu n'omuwendo gw'amaduuka baakizuula nga yalina okufuna amaduuka 14 gokka Waliwo lisiiti eziraga ebyapa byonna 14 ebyaweebwa Butebi nga bamukakasa nga nannyini era nga yateekako omukono gwe.

Waliwo n'amaduuka ge yafunako n'agapangisa, kyokka amaduuka amalala ng'alina kugafuna ku kizimbe ekinaatera okuggwa. Ku kya Butebi okugamba nti yalina kufuna ku mwaliiro gwa wansi kyokka ne bamuwa aga waggulu, Tusingize yagambye nti si kituufu. Ekisooka buli dduuka Butebi lye yasasula lyali lyeraga omwaliiro kwe liri era kino tewali muntu asobola kukikyusa.

Tewali muntu ssekinnoomu wadde ssentebe Kiyimba yali akutte ku ssente za musuubuzi yenna kuba kimanyiddwa nti baziteeka ku akawunti ya bbanka. Omuntu yenna bwabeera alina okwemulugunya abeera alina kuvunaana kibiina so si Kiyimba ng'omuntu.

Tusingize yagambye nti okubeera abalambulukufu kye kibayambye okuzimba ebizimbe bya buwumbi 101 wadde nga bannaabwe abalala bwe baatandika bakyatambudde kitono. Obutakkaanya obuliwo, Tusingize yabutadde ku kya Butebi kwagala kufuna bukulu ate ng'akimanyi bulungi nti obukulembeze obuliwo bwalondebwa bantu.

BUTEBI YEEGAANYE EBY'OGERWA ABA FREEMAN Butebi yagambye nti talemwangako kusasula kumalayo ssente, wabula baamugaana bugaanyi okuddamu okusasula nga balina ekigendererwa ky'okumufiiriza.

Ku kya ssente okuba nga tezaawera bukadde 1,600 ze yasasula nga bwe yasooka okutegeeza yagambye nti baamubala omufuulo bwe baagaana okugattako ssente ze yasasulamu 'good will'. Kyokka nasalawo okukkiriza ssente ze baali babaze ng'akooye okusika omuguwa n'okulinda okutaggwa kuba ebizimbe bibiri byali bimaze okuggwa nga tafuna ssente wadde nga yali yasasula dda.

Yagambye nti wadde nga yalina okufuna ebyapa 14, kyokka yaweebwa ebyapa munaana byokka. Kuno kwe baagatta n'okumulaga ekifo ekimu kye baagamba nti bakibazeemu ebyapa mukaaga.

Mu kusasula yali waakufuna amaduuka ku mwaliiro ogwa wansi, kyokka baasalawo kumuwa maduuka ga mu nkuubo wansi ne waggulu awatasikiriza bakasitoma. Obuduuka obumu baabugula ku bakulembeze bennyini era ne babakakasa nti buli ku mwaliiro ogutuukirwako, kyokka ne bafuna malala.

Eby'okwagala okwegwanyiza obukulembeze, Butebi yagambye nti Kiyimba ye yabyekengera yekka oluvannyuma lw'okufuna ehhambo nga bw'ali omukulembeze omulungi. Eno ye nsonga lwaki Freeman yannyigiriza n'atuuka n'okunteesa omukono ku kiwandiiko nga tayagala neesimbe ku kifo kya bukulembeze kyonna okumala emyaka 10

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...