TOP

Aba Blood Bank balaajanidde Gavumenti

Added 24th January 2019

Aba Blood Bank balaajanidde Gavumenti

 Dorothy Kyeyune akulira etterekero ly'omusaayi ng'annyonnyola

Dorothy Kyeyune akulira etterekero ly'omusaayi ng'annyonnyola

BAKULIRA etterekero ly'omusaayi e Nakasero balaajanidde Gavumenti okwongera ku ssente z'ebawa basobole okwewala ebbulwa ly'ebikozesebwa.

Bino byogeddwa akulira etterekero lino Dorothy Kyeyune mu lukiiko lw'abannamwulire e Nkasero n'ategeeza nti ebbula ly'ebikozesebwa mu kwekebejja omusaayi n'okugusengeka mu biyinja kye kivuddeko ebbula ly'omusaayi kuba tebasobola kugaba musaayi gutali mwekebejje.

 muwala nga yekebejja etterekero lyomusaayi Omuwala nga yekebejja etterekero ly'omusaayi

‘'Sikituufu nti omusaayi gwabuze wabula tetusobola kugaba musaayi mu malwaliro nga tetusoose kugwekebejja naye omusaayi weguli era mu sitooko tulinamu  ‘'units'' z'omusaayi emitwalo 3 naye gwonna simwekebejje. ‘'Kyeyune bweyategeezezza .

Agamba nti bamaze emyaka etaano nga basaba Gavumenti eyongeze ku mbalirira yaabwe naye nga  tekikolebwako era kino kyekiviiriddeko n'ebbula ly'ebikozesebwa kuba ssente zebafuna zaggwawo mu myezi 6 era wano wasinzidde n'ategeeza nti betaaga  obuwumbi 32.29 buli mwaka mwaka gw'eby'ensimbi  okusobola okutambuza obulungi emirimu gyonna.

Ayongeddeko nti ebikozesebwa mu kwekebejja omusaayi byabaggwako wiiki bbiri emabega era bawandiikira minisita  w'ebyensimbi naye n'awandiikira aba National Medical Stores ng'abalagira okwewola ebikozesebwa  nti Gavumenti ejakusasula oluvannyuma.

Agamba nti omwaka guno balina ekiruubirirwa kya kukungaanya ‘'units'' z'omusaayi emitwalo 30 naye betaaga okwongera ku bungi bw'emmotoka ezitwala abakozi mu byalo okukungaanya omusaayi, ebikozesegenda mu kukungaanya n'okwekubejja omusaayi wamu n'okwongera ku bunene bwa sitoowa awaterekerwa omusaayi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...