
OMUSUUBUZI gamumyukidde ku poliisi lwa kuyuzaamu bbaaluwa ya LC eyamuweereddwa ng'alina amuvunaana
Noordine Kasozi omusuubuzi ng'alina edduuka mu Kibe zooni ku Kaleerwe yatunudde ebikalu bwe yakwatiddwa akakiiko ka LC ya Kibe ne kamutwala ku poliisi y'oku Kaleerwe nga bamulanga okunyomoola LC y'ekitundu bwe yamutaddemu ekitiibwa n'emuwandiikira ebbaluwa nga waliwo omutuuze amuvunaana nga bwe yagula essaawa muduuka lye n'agaana okugimuwa lwa 5000 ezasigalayo .

Sheikh Swaibu Nkalubo Tomusange 90 yalumirizza Kasozi nti omwaka oguwedde mu Feb yagenda ku Dduuka ng'ayagala essaawa y'oku kisenge gye baamulamulira 45000/ n'asasulako 40000/ nga yalina okutwala balansi ow'e 5000 bamuwe essaawa ye , ssente bwe zamubula n'asalawo okuddayo okudduka abannyonnyole bamuwe essaawa oba sikyo bamuddize ssente ze yasasulako.
Yagambye nti buli lwe yagenda nga kudduuka nga tebamufaako okutuusa ku bwe yagenze ku LC n'emuwandikira ebbaluwa ng'emuyita agende abannyonyole ensonga muzeeyi Tomusange zamuvunaana.
Omuwandiisi ku lukiiko lwa LC yatwalidde Kasozi ebbaluwa kudduukalye era Kasozi olwagikutte n'agimuyuliza mu maaso ssaako n'okwagala okukuba omuwandiisi.

Ensonga zeeyongeddeyo poliisi n'ekwata kasozi ng'omusango guli Fayiro nnamba SD REF : 19/18/01/2019 , Kasozi yategeezezza nti Tomusange mu kugenda kudduuka okusasula ku ssaawa si ye yaliwo waliwo mukyala , yagasseko n'eyetonda olw'okuyuza ebbaaluwa ya LC
Sulaiman Busulwa ssentebe wa Kibe ne Isma Kibe omuwanika ku kakiiko ka LC baategeezezza nti Kasozi kye yakoze okuyuzza ebbaaluwa ya LC kikyamu nnyo ng'era aba yagyemedde gavumenti Kibe yategeezezza nti Kasozi ne LC enkadde yali agiyisaamu amaaso ng'era yayuzzako ne ku bbaluwa ya nga guno mulundi gwa kubiri