TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakungu ba Kabaka Kiyimba Freeman ne Emmanule Butebi bading'anya

Abakungu ba Kabaka Kiyimba Freeman ne Emmanule Butebi bading'anya

Added 25th January 2019

Abakungu ba Kabaka Kiyimba Freeman ne Emmanule Butebi bading'anya

 Katikkiro charles Peter wakati ate ku kkono ye Kiyimba Freeman ate ku ddyo ye Ssembuusi Butebi

Katikkiro charles Peter wakati ate ku kkono ye Kiyimba Freeman ate ku ddyo ye Ssembuusi Butebi

YADDAAKI  abakungu ba Kabaka John Fred Kiyimba Freeman ne Emmanuel Ssembuusi Butebi batabaganye oluvannyuma lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga okubayita n'abaggalira mu kisenge okumala essaawa nnya ne bafuluma nga bamaze okwesika mu mikono.

Bano Mayiga yabayise Bulange e Mmengo ku Lwokuna olw'eggulo nga buli ludda lwayanjizza ensonga zaalwo eziviriddeko enjawukana ezatuusa Kiyimba Freeman okugenda ku poliisi okuloopa Butebi olw'okumutiisatiisa okumutuusaako obulabe.

Okuggusa oluwalo luno olw'okutabaganya abakungu ba Kabaka bano, Katikkiro yayise Baminisita okwabadde Robert Waggwa Nsibirwa ne Noah Kiyimba saako n'abamu ku bakungu ba Buganda Twezimbe ne bevumba akafubo akaamaze essaawa nnya nga wekaweredde ku ssaawa 12:10 ng'ababadde kabwanango, nga basikanganye mu mikono era ne balangirira nti baddinganye, bagenda kuddamu okukolera awamu emirimu gya Kabaka.

 

Kiyimba ye Ssentebe w'olukiiko lwa Buganda Twezimbe ate Butebi,mmemba ku lukiiko luno. Mu ngeri y'emu Kiyimba ye Ssentebe wa Pulojekiti y'okuzimba amadduka mu ppaaka empya era Butebi y'omu basubuuzi bannanyinni maduuka gano agazimbibwa.

"Tumaze kumpi ssabiiti nnamba nga tulaba embiranye wakati w'abawereeza ba Ssabasajja Kabaka;- Ssentebe wa Buganda Twezimbe Omukungu John Fred Kiyimba Freeman n'Omukungu Emmanuel Ssembusi Butebi.

Wabaddewo obutakkanya ku nsonga ezitali zimu era obutakkanya obwo ne butuusa n'okutuusa ensonga ku poliisi.

Ennaku ezo zonna nze ne bannange ensonga zino tubadde tuzirondoola, olwaleero ne tusalawo tutuule nabo," Mayiga bweyategeezezza Bannamawulire oluvanyuma lw'okutabaganya abagagga bano.

Mayiga yagambye nti buli ludda lubadde n'ensonga eziruluma era nga zetaaga kukolebwako era buli luuyi lwawuliriziddwa nga lwabadde n'ensonga ezokutereeza, bwe batyo ne bakkiriziganya okukomya byonna ebibaddewo.

" Beyamye okukolera awamu okugenda mu maaso okuwereeza emirimu gya Kabaka, okuwereeza emirimu egikulakulanya ekifo kyabwe kubanga bonna Bannamityana bonna Bannassingo era ndi mumativu ne bannange bebambadde nabo nti enkolagana wakati w'abantu bano bombi, egenda kutambula bulungi.

Awo nno njagala okwebaza Baminsita bembadde nabo, njagala okwebaza abawereeza ba Kabaka aba Buganda Twezimbe naye okusinga byonna okwebaza bano ababiri okuwuliriza amagezi agabawereddwa, okuwabulwa, okulungamizibwa ne bakkiriza okukkanya okukolera awamu," Katikkiro bweyalaze essuubi ku nkolagana y'abakungu bano ey'omumaaso.

 BATEREDDWAKO OBUKWAKULIZO:

Katikkiro n'ababadde mu lukiiko luno basabye abagagga bano okukomya okutwala ensonga zaabwe mu mawulire era nti bwebanaddamu okukikola, bakubonerezebwa mu ngeri esoboka,betereeze.

Balagiddwa okukolayo akabonero k'okukyalagana banywe ku ka caayi nga kino kiva ku Butebi okuba nti abadde takyalinya wa Kiyimba nga n'omukolo gweyabadde nagwo ogw'okusaba kw'okwebaza Katonda olw'okumuvunusa akabenje k'eryato akaaggwa ku nnyanja Nalubaale nga November 24,2018, Butebi teyagulinyako ng'ate banne aba Buganda Twezimbe baaliyo.

Bategezeddwa nti balina okukimanya nti mu buli kyebakola, kirina okuweesa Obwakabaka ekitiibwa era ng'abakulembeze basanye okuwa eky'okulabirako ekirungi eri abalala.

Kiyimba yeyamye okuggyayo emisango egiri ku poliisi.

Ababadde mu lukiiko luno basabye Kiyimba asale amagezi nga Butebi atobekerwa amadduka kubanga 14 geyafuna, gali wansi mu beesimenti (Basement).

Butebi yakkiriza okugenda n'amadduka ago geyafuna wadde mu kusooka yali ayagala aweebwe 22 gonna geyasasulira.

BULI OMU YEYAMYE:

Mu kwogera kwe, Kiyimba yategezezza nti oluvanyuma lw'okuyitibwa mu nteseganya zino, ensonga zonna ezibadde zibatabula bazitanyiza nga bafuuse muntu omu.

"Kituufu wabaddewo ensonga nnyingi kyokka oluvanyuma lw'okuyitibwa wano e Bulange, ensonga zonna tuzitanyiza era nze ne munnange Ssembusi Emmanuel Butebi, tutatabaganye era tuli muntu omu.

Njagala okwebaza Katikkiro ne Baminisita betuli nabo wano saako n'aba Buganda Twezimbe n'abantu bonna abazze gyetuli nemutuwa amagezi ag'okulaba nti ensonga zino tuzigonjoola nga tuyita mu nteekateeka ey'okutuula awamu netuzoogerako era akawungeezi ka leero ensonga yonna tugimaliriza era tweyama nti tugenda kukola ng'emirimu gyonna tugikolera wamu ate n'okulaba nga tuzimba nnyaffe Buganda," Kiyimba bweyagambye mu bubaka bwe obw'okukkiriza ebyavudde mu nteeseganya.

Ate ye Butebi nga mu ngeri emu ayita Kiyimba muzzukkulu we yeyamye okuddamu okukolagana ne Kiyimba mu nkolagana gyasuubira etagenda kukoma.

" Nebaza Owekitiibwa Katikkiro olw'omulimu gwatukozeemu olw'eggulo lwa leero. Twatandise obudde bukyali naye kati buwungedde  nga tuli ku nsonga enkulu naye nabeera ng'atutabaganyiza nange neyama okuba nga ngenda n'ebigambo Owekitiibwa Katikkiro byatubuliridde tubeere nga tusobola okuzimba nnyaffe Buganda,Uganda ne Ssingo okutwalira awamu.

"Neeyama okukolagana ne Freeman aba muzzukkulu wange mu ngeri emu oba endala ate muganda wange mu mbeera bwetyo ate tuli bakungu ffena. Neyama okukolagana naye tutandikireewo ebeere entabiro y'enkolagana etagenda kukoma olwaleero," Butebi bweyategezezza.

ABETABYE MU LUKIIKO:

Katikkiro Mayiga yabadde ne Baminisita okwabadde Robert Waggwa Nsibirwa ng'ono ye muwanika wa Buganda ne Noah Kiyimba ng'ono yavunanyizibwa ku mawulire era Omwogezi w'Obwakabaka.

Aba Buganda Twezimbe kwabaddeko Ssalongo Viva Bukenya, Evaristo Seguya, Fred Kasozi Mutebi Mmamba, Charles Ssali, Hajjat Nanah Nalumansi ne Ronald Kirumira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...