TOP

Katikkiro avumiridde ababba ebigezo

Added 25th January 2019

Katikkiro avumiridde ababba ebigezo

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga avumiridde abasomesa abekobaana n'abazadde okubba ebigezo n'agamba nti bano babeera babangulira ggwanga abatuuze abagenda okulibba balimalewo kubanga buli omu ajja kukula ng'atwala obubbi ng'ekintu kya bulijjo.
 
Bino Mayiga yabyogeredde ku Kareen Nursery School e Kibutika-Ndejje mu munisipaali y'e Makindye Ssabagabo  ku Lwokutaano January 25, 2019 nategeza nti kino kisanye okukyuka abayizi babeere nga bekolera ebigezo nga betengeredde.
 
"Kibi nti abazadde mwegatta n'abasomesa okubbira abayizi ebigezo kati olwo olikolawo ki bwalijja nakubba kubanga gwe amuyigiriza omuzze gw'okubba okuviira ddala mu ssomero era nebaza ab'essomero lino okutendeka abayizi mu ngeri ey'omutindo," Mayiga bwatyo bweyalabudde abazadde ku muzze guno.
 
Omubaka w'ekitundu kino mu Palamenti Emmanuel Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene yeyasoose okulopera Katikkiro omuzze gw'abazadde gw'okugendanga ku masomero nebatokota abasomesa babeereko kyebakola,abayizi baabwe balyoke bayite bulungi ebigezo.
 
Katikkiro Mayiga yasabye amasomero okubeera abakakkali ku basomesa abakabasanya abaana abato nategeza nti bano bwebazuulibwa basanye baweebwe ekibonerezo ekisembayo kubanga kuno kubeera kutta biseera by'abaana bano eby'omumaaso.
 
Ku lwe Margaret Kemigisha,nga y'akulira ekifo kino yategezezza nti afuba okulaba ng'atendeka abayizi ab'obuvunanyizibwa era nategeza nti mu mwaka gwaabwe ogwasoose,batuuzizza abayizi 16,bonna nebayitira mu ddaala erisooka nga bafunye obubonero obuli wakati w'obubonero 6-12.
 
" ndi musomesa omutendeke eyabuyingira nga njagala kyova olaba nti olw'obugumikkiriza buno tufunye ebirungi bingi kubanga okusomesa, tetwayingiramu kuyingire olw'okuba tulemeddwa ensi," Kemigisha.
 
Omukolo gwetabiddwako Kaggo Patrick Mugumbule, Tofiri Kivumbi Malokwezza ng'ono Kaggo eyawummula,Ow'eggombolola Kaija nga Katikkiro yagguddewo ekizimbe ky'essomero lino, naasimba n'omuti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...