TOP

Engeri Freeman ne Butebi gye batabaganye

KYADDAAKI abagagga, John Fred Kiyimba Freeman ne Emmanuel Ssembuusi Butebi batabaganye oluvannyuma lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga okubatuuza.

 Ka tikkiro (wakati) ng’atabaganya abagagga John Fred Kiyimba Freeman (ku kkono) ne Emmanuel Ssembuusi Butebi (abeesika mu mikono) ng’abakungu abalala bwe beetegereza.

Ka tikkiro (wakati) ng’atabaganya abagagga John Fred Kiyimba Freeman (ku kkono) ne Emmanuel Ssembuusi Butebi (abeesika mu mikono) ng’abakungu abalala bwe beetegereza.

Mayiga we yayingiridde mu nsonga nga Freeman yaloopa dda Butebi ku poliisi ya CPS ng'amulanga okumutiisatiisa okumutuusaako obulabe.

Enteeseganya zaabadde ku Bulange ku Lwokuna. Ensonda zaategeezezza nti, Ssaabasajja Kabaka yennyini ye yalagidde Katikkiro okutuuza basajja be bano bagonjoole ensonga.

Katikkiro azze atuuza Butebi ne Freeman okuva mu 2016 kyokka nga tewali kalungi kavaamu.

Ku mulundi guno waateereddwaawo ekibinja ky'abatabaganya ekyakulembeddwa Katikkiro, baminisita ba Kabaka okwabadde Robert Wagwa Nsibirwa ne Noah Kiyimba.

Kwe baagasse n'abakungu ba Buganda Twezimbe okuli; Ssaalongo Viva Bukenya, Evaristo Seguya, Fred Kasozi Mutebi Mmamba, Charles Ssali, Hajjat Nanah Nalumansi ne Ronald Kirumira.

Butebi ne Freeman buli omu yaweereddwa obudde okunnyonnyola okwemulugunya kw'alina ku munne nga bw'awa n'amagezi ku ngeri embiranye eno gy'esobola okumalibwawo.

Freeman yagambye nti, obuzibu bwalina ku Butebi kwe kuba ng'asussizza okumuvuma n'okumwonoonera erinnya mu bantu nga bwali omubbi, omulyi w'enguzi, omumenyi w'amateeka, atali mwesigwa era atasaanidde kubeera mukulembeze.

Yagambye nti, guno si gwe mulundi ogusoose okulebulwa Butebi era nga yali amuwandiikiddeko n'ebbaluwa mu 2014 ng'amwetondera era n'asuubiza obutakiddamu.

Kyokka olw'okuba yali alemeddwa okweddako ku mulundi guno, yasazeewo amutwale mu mbuga z'amateeka amwetondere nga biri ku likodi era amuliyirire n'okumwonoonera erinnya.

Yasoose kulemerako ng'ayagala bamukkirize agende mu maaso n'emisango gye yaloopa okuli okumutiisatiisa okumutuusaako obulabe awamu n'okumwonoonera erinnya gye yabadde agenda okuloopa ku Mmande.

Butebi mu kwanukula yagambye nti, obuzibu bwa Freeman agendera nnyo ku bigambo ebimugambibwa abantu abeenoonyeza ebyabwe.

Yeegaanyi nga bwateenyigirangako mu kwonoona linnya lya Freeman wadde okulagira omuntu yenna okukikola kuba ye akkiririza mu kuteesa bwe wabeerawo obutakkaanya bwonna.

Kino azze akikola ku bantu abawerako b'azze asowagana nabo era n'ategeeza nti yali atuukiriddeko Katikkiro wa Buganda n'amusaba ayingire mu nsonga zino.

Omuntu ow'ekika kino ate kibeera kizibu okumala obudde ng'ayogera ku Freeman.

Kyokka bwe yabadde annyonnyola, Freeman yamuyingiddemu n'ategeeza nti oba awakana amukkirize agende mu maaso n'emisango alabe ekituufu bwe kitaaveeyo mu musana.

Butebi yatuuse ekiseera n'ategeeza Freeman bw'aba ng'alemeddeko ku by'okuloopa naye yabadde agenda kuteekayo emisango gy'okumulebula kuba alina obukakafu nti azze ayogerwako ebintu ebibi bingi.

Yalumirizza nti talina ky'ayagaza Freeman okuggyako okumuwa amaduuka ge yasasulira ge yagambye nti okusooka gaali 21, kyokka ne gakendeezebwa okutuuka ku 14.

Ekisinga okuba ekibi kwe kuba ng'amaduuka gano gali wansi mu beesimenti ne waggulu ku bizimbe w'agamba nti tewasikiriza bakasitoma.

Katikkiro yasuubizza nti omulundi omulala tajja kuddamu kutwala budde buwanvu okugonjoola ensonga kuba bulijjo abadde amanyi nti baazitereeza dda.

EBYAKKAANYIZIDDWAAKO

lKatikkiro n'abaabadde mu lukiiko baasabye abagagga bano okukomya okutwala ensonga zaabwe mu mawulire era ne balabulwa nti bwe banaakiddamu baakubonerezebwa mu ngeri yonna esoboka.

lBaalagiddwa okukolayo akabonero k'okukyalagana banywe ku kacaayi kuba kyazuuliddwa nti tewali alinnya kigere wa munne. Butebi teyalinnya ku mukolo gwa Freeman ogw'okumukulisa akabenje k'eryato ogwaliwo nga November 24, 2018.

lBaategezeddwa nti, balina okukimanya nti mu buli kye bakola kirina okuweesa Obwakabaka ekitiibwa era ng'abakulembeze basaanye okuwa eky'okulabirako ekirungi eri abalala.

lFreeman Kiyimba yeeyamye okuggyayo emisango egiri ku poliisi n'obutaloopa Butebi ku by'okumulebula nga bwe yabadde amulaalise.

lAbaabadde mu lukiiko luno baasabye Freeman asale amagezi alabe nga Butebi atobekerwa amaduuka kubanga 14 ge yafuna, gali wansi mu beesimenti (Basement).

lButebi yakkiriza okugenda n'amaduuka ago ge yafuna wadde mu kusooka yali ayagala aweebwe 21 gonna ge yasasulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...