
Nannyonjo eyakubiddwa essasi ng’ali ku kitanda mu ddwaaliro e Mulago.
Sarah Nabukenya nnyina wa Nannyonjo agamba nti abasawo baamukubye ebifaananyi era ne bagezaako okuliggyamu wabula ne ligaana kubanga ekifo we litudde kyabulabe ate tewali musaayi gumala mu ddwaaliro.
Nannyonjo yakubiddwa esassi mu lubuto ku Lwokusatu essaawa 1:00 ey'akawungeezi bwe yabadde ayita ku kizimbe kya Nalubwama Arcade okusisinkana mukwano gwe eyamukubidde essimu amutwalire eby'okwewunda by'abakyala.
Omukuumi wa SWAT Security Company, Caleb Muhwezi yavudde mu mbeera oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya n'abaserikale ba KCCA abaabadde basolooza ssente ku batembeeyi abatundira ku lubalaza lwa Nalubwama Arcade n'akuba amasasi mu bantu omuntu omu Brenda Bakooye ow'e Nsambya n'afiirawo ate Nannyonjo n'atwalibwa e Mulago ng'ataawa.
Hadijah Nannyonjo asoma diplooma mu mawulire e Kampala Yunivasite.
Nnyina asaba abazirakisa bamuyambe kuba buli lunaku afulumya ssente ezitakka wansi we 350,000/- kyokka omwana we ayongera kubeera bubi ng'ali ku ssimu eno 0788661197.
Omumyuka w'omwogezi wa poliisi Luke Owoyesigyire yategeezezza nti Muhwezi yakwatiddwa ng'okunoonyereza kugenda mu maaso. Nannyonjo eyakubiddwa essasi ng'ali ku kitanda mu ddwaaliro e Mulago.
Bebe Cool (mu kakoofiira akamyufu) ng'abuuza ku bawagizi be abazze okulaba emmotoka ekoleddwa Bannayuganda mu Kampala. Can. Dr. John Sennyonyi (ku kkono) ng'ayogera.
Deborah nanfuka henry nsubuga emmanuel ssekaggo