TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow'emyaka 5 alumirizza ssengaawe okumusuula mu nva

Ow'emyaka 5 alumirizza ssengaawe okumusuula mu nva

Added 27th January 2019

OMWANA ow’emyaka 5 akwasizza ssengaawe bw’amulumirizza okumukuba n’amusuula mu nva ezaamwokezza omukono.

 Namuli eyayokeddwa ssengaawe

Namuli eyayokeddwa ssengaawe

OMWANA ow'emyaka 5 akwasizza ssengaawe bw'amulumirizza  okumukuba n'amusuula mu nva ezaamwokezza  omukono.

Zulaika Nakanjako,30,  omutuuze w'e Kyebando mu Katale zooni ng'alina woteeri mu Kibe zooni  mu Kampala  y'akwatiddwa poliisi y'oku Kaleerwe oluvannyuma  lw'okukuba   omwana wa mwannyina Zaina Namul,i 5  n'amusuula mu nva ezamwokyaomukono.

Nakanjako okukwatibwa waliwo omukyala omutembeeyi w'e ngoye Anet Bukirwa eyalabye omwana  ng'omukono guleenya ensonga nazitwala ku poliisi .

Bukirwa  omutuuze w'e Kawanda yategeezezza nti yabadde atambula n'asanga omwana  ng'omukono gwayokeddwa era olwamubizizza kye yabadde n'amutegeezza nga ssenga we bwe yamukubye n'agwa mu nva. Yagasseeko  nti olw'okuba muzadde kyamuwalirizza ensonga okuzitwala ku poliisi n'ekwata Nakanjako.

Nakanjako ng'ali ku poliisi yagambye nti Namuli mwana wa mwanyina Sulaiman  Lukwago ng'era yamukuzizza okuva obuto ng'omwana byayogera nti yamukubye n'amusuula mu nva si bituufu waliwo ababimuteekamu olw'ebigendererwa byabwe ebirala.

Yagasseeko nti ye talina mwana ku nsi ng'era omwana wa mwanyina gw'atwala ng'omwana we nga tasobola kumutulugunya .

Wabula abamu ku batuuze baagenze ku poliisi ne basigaba eyimbule Nakanjako  nga bagamba omwana okujja omukono tekyali kigenderere . Baagasseko nti bbo babadde bamaanyi nti omwana wa Nakanjako kuba amuyisa bulungi bakitegedde ku luno nti wa mwanyina.

 Wabula omwana yategeezezza  abasirikale nti ssenga ye yamukubye nagwa mu nva z'ebijanjaalo .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...