TOP

Ffaayo ku bintu omwana by'atwala ku ssomero

Added 28th January 2019

Ffaayo ku bintu omwana by’atwala ku ssomero

 Omuzadde ng’akebera kkeesi ya muwala we.

Omuzadde ng’akebera kkeesi ya muwala we.

BULI muzadde mu kiseera kino ali mu keetaalo ka kugula bintu omwana we by'atwala ku ssomero. Akamu ku kaseera akanyuvu buli muyizi k'asinga okwesunga ng'essomero lituuse ke k'okugula by'atwala ku ssomero anti bangi baweebwa akakisa okukola olukalala lwa buli kye beetaaga kasita kiba nga tekikontana na mateeka ga ssomero.

Wadde ng'omuyizi aba yeetaaga ebyokukozesa ng'addayo ku ssomero, omuli ebitabo, ekkalaamu, ebyokulya ne kalonda omulala, buvunaanyibwa bwa muzadde okulaba nti ebintu by'atwala ku ssomero tebikontana na mateeka ga ssomero era tebiimuggye ku mulamwa gwa kusoma okugeza nga essimu, leediyo, matatu, engoye ezeesitazza n'ebyokula ebingi.

Mu ngeri eno omuzadde kimukakatako okutunula mu lukalala lw'omwana nga tannamuwa nsimbi kugenda kubigula okwewala okugula enkumuliitu y'ebintu eteetaagisa n'ebyo ebikontana n'amateeka g'essomero.

Ng'oggyeeko omuzadde, n'amasomero gavunaanyizibwa kinene mu kuziyiza abayizi okuleeta ebintu biteetaagisa era agamu gassaawo n'amateeka ku biki ebitalina kuleetebwa kw'ossa n'obungi obwetaagisa.

Agamu gamanyi okubagaana okujja n'ekintu kyonna wabulabasasula ku ssomero olwo ne liwa omuyizi buli ky'aba yeetaaze omuli ebitabo, ekkalaamu, engoye n'ebyokulya. Kino kiyamba abayizi okubeera ekyenkanyi nga tewali asukkulumye ku munne.

EBIZIBU BY'OMWANA OKWEGULIRA BY'ATWALA

1 Omuyizi ayinza okuva ku mulamwa gw'okusoma. Abayizi balina omuze gw'okukukusa ebintu ebitakkirizibwa ku masomero nga ssinga omuzadde aba tafuddeeyo kwekebejja mwana by'aba atutte, ayinza okutwala ebintu ebigenda okumuggya ku mulamwa gw'okusoma. 2 Okuzaalira bayizi banne emize omuli okubba kubanga abayizi abamu tebaleeta bintu biwera olw'obufunda bw'ensawo y'abazadde.

3 Okugobwa ku masomero, Amasomera agasinga gaba n'amateeka amakakali era bassawo n'ebibonerezo ebikambwe eri omuyizi aba agamenye. Omuzadde alagajjalira omuyizi n'atwala ekintu ku ssomero ekimenya amateeka y'oyo gw'osanga nga buli mwaka aba anoonya ssomero ppya gy'atwala omwana we.

4 Abaana abamu bwe baweebwa ebbeetu okwegulira ebintu, weesanga ng'aguze ebyokulya bingi ne balemwa n'okulya emmere ku ssomero kubanga baba n'ebyokulya bingi.

5 Abayizi abamu olw'okwegulira ebintu ebingi, batuuka n'okulengezza abasomesa ne bayizi banne olw'okuba balina ssente nnyingi.

ABAZADDE BOOGEDDE

Juliet Nabasenye e Ndejje. Kituufu okuleka omwana wo okwekolera olukala lw'ebintu bye yeetaaga ng'adda ku ssomero wabula tuula naye oluvannyuma muluyitemu era bw'oba olina ensonga lwaki olina ky'oggyako oba ky'okendeeza munnyonnyole kimuyambe okukula ng'amanyi nti wadde ssente weeri erina kukozesebwa we yeetaagisa. Ne bwe kiba kivudde ku nsimbi butabaawo, mubuulire akule ng'asobola okutambula n'embeera yonna ebaawo.

Hadijah Namutebi e Makindye. Abaana bange mbawa ebbeetu ne beewandiikira bye beetaaga, kyokka bwe bamala mbiyitamu okukakasa nti batwala ebyo byokka ebikkirizibwa ku ssomero era bwe nsangako ekiteetaagisa nkiggyako.

Wabula omuzadde mu kifo ky'okupokera omwana ebintu ebingi yandibadde amuwa akasente akawerako kuba oluusi amasomero gamanyi okutusasuza ensimbi balabirire abaana baffe kyokka ne batakituukiriza.

ABAYIZI BYE BAGAMBA Abudul Hakim Walonza P6; Maama y'antegekera buli kimu kyemba ntwala ku ssomero era sikisangamu buzibu bwonna kuba angulira buli kye neetaaga wabula agoberera mateeka g'essomero.

Isaac Nelly Bwanika S.3; Nze neekolera olukalala lw'ebintu bye ntwala ku ssomero kyokka oluvannyuma nduwa maama n'aluyitamu wabula emirundi egisinga aluzza alina by'asazizzaamu. Takikola lwakuba mba sibyetaaga wabula ahhamba kiva ku nsimbi eziba zitamusobozesa kumpa buli kye neetaaga.

Tonny Muwemba S6: Nze nkoma ku kukola lukalala olwo maama n'abingulira kyokka olw'okuba mmanyi ensawo ye kw'ossa n'amateeka g'essomero, simala gateekako buli kye mpulira wabula ebyo ebikulu era ebikkirizibwa ku ssomero.

Precious Kobusingye S6: Nze saagala kwetikka ate sirina ngeri gye nnyinza kubikuuma butabibba nga ntuuse ku ssomero. Muzadde wange asinga kumpa ssente nze ne nsalawo oba ngula kyokka sisobola kuva waka nga takebedde nsawo yange okumanya bye ntutte.

Angella Akello S6: Bazadde bange bantwala ng'omuntu omukulu era siyinza kutwala bikontana na mateeka ga ssomero. Ngula ebyo ebisaanidde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...

Mutuulakungo alaze bwe yate...

OMUSAMIZE Mutuulakungo eyatendeka Augustine Yiga Abizzaayo okutetenkanya ekibuga alaze engeri gye yamubangulamu...

Balumbye Mayinja okuyingiza...

Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng’awaana Museveni kyokka n’ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye...

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...