TOP

Ebya S4 bifuluma Lwakuna

Added 29th January 2019

Ebya S4 bifuluma Lwakuna

 Odongo

Odongo

EBYAVA mu bigezo bya S4 bijja kufuluma ku Lwakuna lwa wiiki eno. Bijja kufulumizibwa Minisita w'Ebyenjigiriza Muky. Janet Museveni ku ssaawa 8:30 ez'olweggulo. Bukedde ategeezeddwa nti omukolo gutegekeddwa ku kizimbe kya UBOS- Uganda Bureau of Statistics mu Kampala.

Wabula amasomero ga Siniya gasattira olw'ebyabavudde mu bya PLE, ab'amasomero ag'enjawulo bye geemulugunyaako nga balumiriza ekitongole ky'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB ku obubonero bwe gaafunye nti ssi bwe butuufu. Abakulira amasomero n'abayizi tebamanyi kiddako n'abazadde abamu baagala UNEB eddemu okugolola empapula z'ebigezo by'abaana baabwe.

Akulira UNEB Daniel Odongo agambye nti buli ssomero lye bakwasa ebigezo byalyo, baliweerako olupapula lwe balina okujjuza okulaga obutali bumativu ssinga babeera nga tebamatidde n'ebigezo nga UNEB bw'ebifulumizza.

Olwaleero UNEB esuubirwa okusisinkana minisita w'ebyenjigiriza n'emizannyo Janet Museveni okumuyitiramu engeri abayizi gye baakozeemu ebigezo nga tannaba kubifulumya.

Omwogezi wa minisitule Patrick Muinda yategeezezza Bukedde ku ssimu nti olwaleero UNEB esisinkana minisita okumutegeeza ebifudde mu bigezo alyoke abawe olunaku lw'okubifulumya.

Odongo yategeezezza mu Sunday Vision nti tebannaba kufuna ssomero lyonna lyabatuukiridde nga lyemulugunya nti ebigezo byalyo baabigolodde bubi. Omubaka Joseph Gonzaga Ssewungu (Kalungu West) era atuula ku kakiiko k'ebyenjigiriza mu palamenti, amwanukudde n'agamba nti ebyo Obongo by'ayita eby'obwewussa bijja kumukyukira kubanga bamaze okulaba abazadde nga 10 abazzeeyo ne beemulugunya era bagenze okutunula mu bubonero bw'abaana baabwe nga UNEB yabadde ebasedde.

Odongo yategeezezza nti mu kiseera ekiyise, bafunye okwemulugunya okuva mu bazadde b'abayizi abatudde P7 ng'abamu bagamba nti osanga singa baddamu okwetegereza olupapula lw'omuyizi ayinza okwongerako akabonero kaabadde asubiddwa.

Abamu baagala UNEB ebalage ku mpapula z'abayizi ze baagolodde kyokka Odongo agamba nti UNEB kitongole ekirina abakugu abeesigika nga singa kyali nti buli muntu asobola okutunula ku mpapula z'ebigezo bye bagolodde, bandibadde bateeka obutebe ku mabbali g'ekkubo ne batuula awo ne bagolola ebigezo nga buli muntu ayitawo asobola okubitunulamu.

Ebimu ku bazadde n'abasomesa bye boogerako nti waliwo amasomero agamu UNEB g'egolola ebigezo byago ng'ekendeeza ku bubonero mu bugenderevu.

"EMPAPULA TEKUBEERA MANNYA GA BAYIZI WADDE ERINNYA LY'ESSOMERO

Abayizi nga bakola ebigezo mu November omwaka oguwedde, Odongo yannyonnyodde Bukedde emitendera mwe bayisa ebigezo okutuuka lwe babifulumya.

Yagambye nti baggyawo enkola y'okuwandiika erinnya ly'omuyizi n'essomero ku lupapula lw'ekigezo. Yagambye nti ekisooka abayizi bwe bamala okukola ebigezo, babitwala mu kifo gye bagenda okubigololera.

Abasomesa abakola omulimu guno batuula wamu ne bagolola ebigezo bya ssomero ku ssomero, olupapula terubeerako linnya lya muyizi wadde erinnya ly'essomero ne yeewuunya engeri omusomesa gy'ayinza okubicanga nga tamanyi muyizi nnannyini lupapula wadde essomero mw'ava! Bwe bamaliriza okugolola, waliwo abayita mu mpapula ezo ne bazeetegereza n'okulondoola oba ddala obubonero bwe bataddeko bw'ebwo obutuufu. Abagamba nti tusobola okubikyusa ekyo tekisoboka.

ABAMU TEBAFUNYE BIFO MU S1 Nga bakyali mu kuttunka n'obubonero ng'amasomero agamu geemulugunya nti baagasedde, abayizi kumpi 50,000 tebaafunye bifo mu masomero ga siniya gye baasaba bwe batyo ne basubwa okufuna ebifo mu masomero agaali ag'ebirooto byabwe.

Minisitule y'ebyenjigiriza yawadde abayizi 54,9970 ebifo mu masomero ag'enjawulo okuli ag'obwannannyini n'aga gavumenti era ssentebe w'olukiiko olusunsula n'okugaba abayizi mu masomero Benson Kule yagambye nti eby'okugamba nti abayizi baafisse talina kyabimanyiiko. "Saanukula ku kintu kye ssaatandise era sisuubira nti ekyo kituufu nti abayizi baafisse," Kule bwe yaggumizza.

Wano Ssewungu yategeezezza nti singa abayizi babeera nga bafisse, minisitule erina okubasalira amagezi era bali mu mikono gyayo. Kyokka basaanye okukimanya nti amasomero agamu tegajja kuwa baana abo abalowoozebwa nti baakoze bulungi kubanga agamu gakkiriza nti waliwo ebitaagenze bulungi.

Agamba nti ogenda kusanga omuyizi ava mu ssomero eritatera kukola bulungi nga ku luno yayise, oyo amasomero ag'amaanyi agamanyiddwa gayinza obutamuwa kifo kyokka ne gawa gw'olowooza nti yafunye bubonero bwa wansiko kubanga ye bakakasa nti essomero ly'abaddemu litegeerekeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...