TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuzadde leeta omwana mu mwoleso gwa Harvest Money

Omuzadde leeta omwana mu mwoleso gwa Harvest Money

Added 29th January 2019

Omuzadde leeta omwana mu mwoleso gwa Harvest Money

ABAYIZI ba MST Junior Academy erya Dr. Emma Naluyima ne bba Ssaalongo Washington Mugerwa bacamula abayizi n'abaana abeetaba mu mwoleso gwa Harvest Money ogutegekebwa Vision Group etwala ne Bukedde.

Dr. Naluyima agamba nti, abayizi bano balaga abazadde nti abaana basobola okuyiga okulima n'okulunda ng'ate bakola bulungi ne mu by'ekibiina. "Oluvannyuma lw'okuwangula empaka z'omulimi asinga n'afuna ekirowoozo ky'okutumbula obulimi n'obulunzi mu ggwanga nga tutandikira ku baana okulaba nga tuzimba ebiseera by'eggwanga eby'omu maaso ebitangaavu era ebinyweevu", Dr. Naluyima bw'agamba.

MULEETE ABAANA MU MWOLESO Robert Kabushenga, akulira kkampuni ya Vision group etegeka omwoleso guno agamba nti ekimu ku biziηηamya obulimi n'obulunzi mu Uganda be bazadde obutayigiriza n'okwagazisa abaana baabwe emirimu gye bakola okuva mu buto.

Awa eky'okulabirako ekya famire gye yasisinkana e Budaaki ey'abalimi b'ennyaanya nga yaakazirimira emyaka 100 era ng'aliwo kati muzzukulu w'eyagitandika nga ku myaka 34 alina diguli eyookubiri mu kulima ennyaanya kyokka nga ssente ze bayingiza mpitirivu.

Polof. Diana Nambatya Nsubuga ng'ono asomesa abaana okulimira awafunda, agamba nti mu kiseera kino ng'emirimu gya ofi isi mitono bw'ogeraageranya obungi bw'abatikkirwa buli mwaka okuva mu yunivasite n'amatendekero amalala mu Uganda, ky'ekiseera abazadde okuyigiriza abaana baabwe okulima n'okulunda nga bizinensi.

Ono agamba nti, abazadde okugenda mu misomo n'emyolesobokka abaana ne babaleka emabega ebeera nsobi kuba abaana kye balabye kisigala ku bwongo bwabwe ne bakula nga bakirowoozaako.

Agamba nti, ekitandikirwako kwe kuwa omwana okwagala okukola ekintu. Omwana ssinga omutwala mu mwoleso kimuyamba okubaako by'alaba ne bimusigala mu birowoozo era ssinga binaamusanyusa agenda kusigala ng'abirowoozaako mu ngeri y'obwagazi.

Omwana okumuleeta mu mwoleso omuli abaana abalala aboolesa, kya kumuyamba okulabira ku banne nti okulima n'okulunda mulimu ogusobola okuvaamu ssente kuba abamu ku masomero n'awaka bakitwala nga kibonerezo olwo n'akula nga tayagalira ddala kulima na kulunda.

Mu mwoleso omwaka oguwedde, amasomero ag'enjawulo gaayolesa abayizi baabwe bye bakola omuli keeke, kulisipusi, ebirime ng'enva endiirwa n'ebirala. Bino byonna bibayamba okufuna akatale k'ebintu byabwe olwo abayizi bano ne bakimanya nti bye bakola bisobola okuvaamu ssente ne bwe babeera bavudde ku ssomero ne basobola okweyimirizaawo.

Olw'okuba nti mu mwoleso guno mubeeramu ebyolesebwa eby'enjawulo, kibayamba okwongera okugaziya okumanya kwabwe n'obusobozi okulowooza ku bye basobola okukola n'obulamu bwabwe olwo ne kibayamba okumanya amasomo ge basobola okukola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...