TOP
  • Home
  • Amawulire
  • DP esekeredde Balaam ku bya People Power: 'Omala budde bwo'

DP esekeredde Balaam ku bya People Power: 'Omala budde bwo'

Added 29th January 2019

DP esekeredde omutegesi w’ebivvulu Balaam Barugahara olw’okuwandiisa ‘People power’ ng’ekibiina ky’obwannakyewa n’egamba nti ali mu kwonoona biseera bye kuba eno ‘’ ŋŋombo bugombo’’ ng’okukiggyako tekirina kine kye kigenda kukyusa ku ndowooza za bantu.

Omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine y'abadde akozesa eŋŋombo ya ‘People power' ekozesebwa  ekisinde ky'ebyobufuzi ekigezaako okusiguukulula Pulezidenti Museveni .

Aba ‘People power' babadde bambala bimyuufu  ng'akabonero kaabwe. Kyokka Balaam , People Power yagiwandisizza ng'ekibiina ky'obwannakyewa n'ebyambalo ebimyuufu n'ebiwandiisa ng'ebibye.

Omwogezi wa Pulezidenti wa DP, Fred Mwesigwa agambye bannamawulire mu Kampala nti  ekibiina kino kiri wamu n'ekisinde kya Bobi Wine ekibadde kiyitibwa ‘People Power' era bagenda kutegekayo akababi  mu bbanga eritali ly'ewala.

‘'Jjajja wa Bobi Wine yali wa DP. Taata wa Bobi Wine yali wa  DP era mwalaba engeri gye twamuzikamu. Muganda wa Bobi Wine , Eddie Yawe naye wa DP.

DP erina akakwate ka maanyi ne Bobi Wine wamu n'ekibadde kiyitibwa ‘People Power' era tewali agenda kututangira kugenda mu maaso. Ebyo Balaam by'aliko ayonoona budde bwe. People Power ŋŋombo bugombo,''  Mwesigwa bw'agambye.

Mwesigwa agambye nti Bobi Wine asobola okukozesa ekikonde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukazi lwe yeeronda n'atam...

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera...

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...

Aba Ebonies bagaanyi Corona...

Dr. Bbosa (mu katono) ng'amannya ge amatuufu ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enkola empya mwe...

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

NRM eggaddewo okugaba ffoom...

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kalagidde buli ayagala obubaka bwa Palamenti n'obwassentebe bwa disitulikiti okusooka...