TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Banaasomesa okulima enva endiirwa mu musomo gwa Harvest Money

Banaasomesa okulima enva endiirwa mu musomo gwa Harvest Money

Added 30th January 2019

KATONDA yatuwa ensi nga nnamu bulungi okusobola okutuyimirizaawo kyokka ffe ffennyini tugenze tujesaanyirizaawo okutuuka okulowooza nti buli kirimibwa kirina kuzzibwako ddagala na bigimusa bizungu okukula.

 Abalimi nga balambula ennimiro y’enva mu kifo awatendekerwa abalimi.

Abalimi nga balambula ennimiro y’enva mu kifo awatendekerwa abalimi.

Julie Matovu Nakalanda omulimi w'enva era omutendesi w'abalimi mu bitongole eby'enjawulo omuli bbanka n'ebitongole by'obwannakyewa agamba nti kino ky'ekiseera Bannayuganda okudda ku kkubo ly'okukuuma obutonde okusobola okwekuuma nga balamu bulungi.

Ono agenda kusomesa abalimi b'enva endiirwa n'okulimira mu kiyumba mu misomo egitegekeddwa mu mwoleso gwa Harvest Money e Namboole nga February 15-17.

Okuyingira mu mwoleso gwa 10,000/- ate okutendekebwa kwa 10,000/-.

Ono agamba nti tulina okukkiriza nti ettaka kwe tulimira likaddiye nga kino kiva ku bungi bw'abantu obweyongera buli lukya kyokka ng'ettaka lisigala ku bugazi bwe bumu.

"Tukimanye nti ky'ossa mu ttaka ky'ofuna mu makungula.

Eddagala n'ebijimusa ebizungu, bisannyusa abalimi kuba afuna kingi mu bwangu kyokka obulabe bwe bikola ku butonde bwa maanyi n'okusinga omuntu ky'ayinza okulowoozaako," Nakalanda bw'agamba.

EBIGENDA OKUSOMESEBWA

Okukozesa obutonde:

Ebimu ku bigenda okusomesebwa y'engeri gye tusobola okukozesa ebitwetoolodde okukuuma ettaka nga lirimu ebiriisa ebirime byaffe bye byetaaga okukula obulungi n'okutuwa ebiriisa emibiri gyaffe gye byetaagamu.

Ebika by'enva:

Tugenda kusomesa abalimi ebika by'enva bye basobola okulima okusinziira ku buli omu obuzobozi bwe era ebivaamu ssente eziwera. Enva nga doodo, nakati, ebbugga n'ebirala bisoboka okulimibwa wadde oli wafunda.

Okufuna mu nva:

Omulamwa gw'omwoleso guno gugamba nti ‘Obulimi nga bizinensi'. Twagala okukulaga engeri gy'osobola okufuna ssente okuva mu kulima enva ng'otandika n'okukekkereza ssente z'osaasaanya ku kugula enva awaka n'oluvannyuma okufuna akatale akalala.

Ebijimusa:

Obujimu mu ttaka kikulu era tugenda kulaga abalimi engeri gy'osobola okwekolera ebijimusa by'obeera okozesa mu nnimiro yo n'osobola okulima nga weesigama ku butonde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...