TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana eyabuziddwawo e Nkokonjeru asattizza abatuuze

Omwana eyabuziddwawo e Nkokonjeru asattizza abatuuze

Added 30th January 2019

Omwana eyabuziddwawo e Nkokonjeru asattizza abatuuze

Bazadde b'omwana eyava e Nkokonjeru mu disitulikiti y'e Buikwe okugenda ku kyalo Namagoma-Kakungube mu tawuni kanso y'e Kyengera mu disitulikiti y'e Wakiso okuwummula emitima gibeewanise oluvannyuma lw'okufuna amawulire ng'omwana ono bwe yabula nga ky'aggye atuukeyo.

Mourice Mukuye (7) eyali asoma P.1 ku ssomero lya Nsonga RC e Nkokonjeru nga mutabani wa Rose Mbabazi ye yabula nga December 30, 2018 nga n'okutuuka kati tannamanyikako mayitire.

Mbabazi ategeezezza Bukedde nti Mukuye okubula yali agenze wa mugandawe Christine Mukamanzi e Namagoma okuwummula kyokka bwe baamutuma okubaako by'agula ku dduuka enkeera w'olunaku lwe yagenda teyaddayo waka.

Bano bagamba nti baagenda ku poliisi y'e Namagoma ne baggulawo ffayiro nnamba SD10/30/12/2018 naye nga teri kye baali batuseeko kyekuusa ku mawulire g'okubula kwa mutabani waabwe.

Bano bakoowodde omuzira kisa ayinza okuba nga yalaba ku mwana ono oba olw'awo nga yamulonda abayambe abategeeze wa gy'ali ku nnamba y'essimu 0757342490.

Mbabazi agamba nti wadde nga babadde batambudde okubuna poliisi, amalwaliro n'okulanga ku bizindaalo naddala mu byalo by'e Namagoma omwana gye yabulira, n'okutuuka kati tebannabaako buyambi bwe bafuna ku mawulire agakwata ku kubula lw'omwana.

Ono ategeezezza nti kati asula atunula nga n'ebirowoozo biyitiridde okumwesombako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...