TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri Stevia gy'aziyiza okuwunya akamwa n'omugejjo

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri Stevia gy'aziyiza okuwunya akamwa n'omugejjo

Added 30th January 2019

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri Stevia gy'aziyiza okuwunya akamwa n'omugejjo

 Endokwa za Stevia eziwangulwa.

Endokwa za Stevia eziwangulwa.

WIIKI ewedde nakusuubizza okukulaga emigaso gya Stevia egy'enjawulo naddala eri obulamu bwo ssinga omukamulamu butto oba okumukolamu ensaano. Nnyongera okukujjukiza Stevia kubanga abamu mwatandise okuwangula endokwa 1000 ezisimba yiika emu ofunemu kkiro 300 buli emu ngikuguleko 20,000/- kuba akatale weekali. Ate omukisa oguwangula nagwo gukyaliwo.

Atamanyi Stevia, guno muddo ogulimu sukaali ow'obutonde ng'akubisaamu emirundi 200 mu sukaali owaabulijjo gwe bakamula mu bikajjo. Ensaano oba butto ono omuteeka ku caayi n'onywa kuba guwooma olw'ekirungo kya Chlorophyll oba muyite kiragala awoomerera.

Ssinga obeera okozesa sukaali wa Stevia teweeraliikirira ndwadde ziva ku sukaali ono gw'onywa.

1 Stevia ayamba okutereeza sukaali mu mubiri omuntu n'abeera ne sukaali amumala.

Abamu beebuuza nti sukaali ate akkakkanya atya sukaali, kino Stevia akikola kubanga alimu ekirungo ekiyamba obutoffaali okuzimba ekirungo kya ‘yinsulin' okweyongera mu musaayi n'okunuuna obutwa mu musaayi olwa kiragala amulimu olwo sukaali n'atereea.

 ukaali wa tevia owobuwunga Sukaali wa Stevia ow'obuwunga.

2 Ayoza amasavu amabi mu mubiri agandireese puleesa okulinnya ekitegeeza ggwe alina puleesa n'ayagala okumwetangira mukozese.

3 Alimu omunnyo ogwa Potassium nga guno gugumya ebinywa by'omutima ne gusobola okusindika omuaayi mu buli kanyomero k'omubiri, ssinga omukozesa endwadde z'omutima oba ozinogedde eddagala.

4 Omuntu afuna olulusulusu mu kamwa olwa sukaali ono owaabulijjo n'atandika okuwandawanda, ssinga okozesa Stevia tojja kuddamu kuluwulira.

5 Ayamba abakyala ku ndwadde z'ekikaba okugeza kandida. Obuwuka obuleeta kandida bwagala nnyo sukaali ava mu bikajjo. Kasita obuwuka buno obuggyako sukaali ono n'otandika okunywa owa Stevia buba tebukyasobola kubeerawo era bufa.

6 Mulungi eri abaana abadda ku masomero kuba takaatuuka bw'omunywa ate oli omulala akaatuukira mu mbuto zaabwe ekibaleetera okumaguka ekitabaawo ssinga banywa owa Stevia.

Olw'obutakaatuuka, ayamba n'okuwonya alusa kubanga tasajjula mabwa nga bw'olaba sukaali owaabulijjo ate ye talina asidi. Emboozi z'omukenkufu Julius Nyanzi owa Prof bioresearch 7 Abakola bizinensi ey'okukamula obutunda sukaali ono abakolera kuba ogenda kukekkereza kinene ssinga omukamuza obutunda naawe afumba caayi.

8 Ayamba ku balwadde ba kookolo, obutoffaali buno buzaala nnyo kasita bufuna ebiwoomerera, ssinga okozesa Stevia abuziyiza obutazaala ne kiyamba omulwadde wa kookolo.

 ukaali wa tevia owamazzi Sukaali wa Stevia ow'amazzi.

9 Ayamba obutalumwa mutwe kuba abayambako okwoza omusaayi ate tagenda ku bwongo ng'ebiwoomereze ebirala ajja kuyamba obutalumwa mutwe.

10 Abakola emigaati asobola okubayamba ne bakola emigaati egiriibwa abantu abataagala sukaali ate nga giwooma.

11 Ayamba okwongera ku musaayi ate avumula ku bawunya akamwa olw'omukka oguba gusigala mu kyenda ne kiwonya omuntu obutawunya kamwa anti takaatuukira mu lubuto kukola mukka guno oguwunyisa akamwa.

12 Asala omugejjo kubanga taliimu masavu gonna. Omukenkufu asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...