TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkampuni endala etadde akazito ku Balaam ku bya People Power

Kkampuni endala etadde akazito ku Balaam ku bya People Power

Added 1st February 2019

BANNABYABUFUZI babiri beesowoddeyo ne balumba Balaam Barugahare 'Ssaabavvulu' ku kwagala okwekomya ekisinde kya 'People Power' ne bategeeza nti nabo baakiwandiisa dda nga ehhombo y’ekibiina kyabwe eky’ebyobufuzi.

 Omumyuuka w'ekibiina Simon Peter Ouma ne ssaabawandiisi w'ekibiina Stephen Wafula (ku ddyo).

Omumyuuka w'ekibiina Simon Peter Ouma ne ssaabawandiisi w'ekibiina Stephen Wafula (ku ddyo).

Simon Peter Ouma ne Stephen Wafula bazze mu ofiisi za Bukedde n'ebbaluwa gye baawandiikidde abakulira ekitongole ekiwandiika kkampuni n'ebitongole ekya Uganda Registration Services Bureau (URSB) eraga nti baatandika ekibiina ky'ebyobufuzi ekiyitibwa Uganda Meritocracy Party (UMP) nga kirina ehhombo eya 'People Power'.

Baalagidde URSB ewanduukulule mangu ekibiina ekyekuusa ku hhombo yaabwe kubanga baagiwandiisa mu 2016.

Simon Peter Ouma yagambye nti tebasobola kukkiriza kunyigirizibwa ate nga baawandiisa dda ekibiina ekirina ehhombo ya 'People Power' era yaabwe.

Baagambye nti bakolagana bulungi n'ekisinde kya 'People Power' eky'ebyobufuzi era tebabalinaako buzibu bwonna kyokka tewali mulala akkirizibwa kwekomya hhombo yaabwe era bagenda kuttunka mu kkooti.

LOODI MEEYA ATANGAAZIZZA

Loodi Meeya Erias Lukwago awabudde ku batinkiza okuwandiisa abisinde by'ebyobufuzi ebitandikibwawo okukunga abantu oba okuwakanya enkola ya Gavumenti embi nti, bamala budde amateeka tegakkiriza kubiwandiisa era tebiriiko bwannannyini.

Yagambye nti ebisinde byobufuzi bibaddewo bingi nga bitandikibwa okuwakanya ensonga y'ebyobufuzi ebeerawo mu kiseera ekyo naye oluvannyuma bikoma ate tebikosa bibiina byabufuzi kubanga ababitandikawo baba n'ebibiina byabwe mwe bava era baddayo.

Yagambye nti Ssemateeka akyogerako nti buli muntu asobola okutandikawo ekisinde kye naye bwe kikwatayo obulungi abantu ne baagala okukibba, tebasobola kukiwandiisa nga kisinde okuggyako nga bakiwandiisa nga kibiina kya byabufuzi ekyetongodde.

Yeewuunyizza nti, 'People Power' yawandiisiddwa kye yagambye nti, tekisoboka era abantu basaana kuwabula nti abaagala okubba ekisinde ekyo tebalina we basobola kuyita okuggyako nga bakiwandiisizza nga kibiina kya byabufuzi ekitali kyangu.

Lukwago yategeezezza nti ayagala okukomya ekisinde ekyo asobola kukitwaala nga kkampuni ye naye nga ssi kutwala bigambo nga ye bw'alowooza.

Ekisinde kya 'People Power' kyatandikibwawo omubaka Robert Kyagulanyi 'Bobi Wine' n'ekigendererwa ky'okukunga bannansi okukozesa obuyinza baabwe obubaweebwa mu Ssemateeka balwanyise enkola ya Gavumenti gye batawagira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...