TOP

Kusasira yeetondedde Munnamagye Kasirye Ggwanga

Added 1st February 2019

CATHERINE Kusasira ategeezezza nga bwe yakuzibwa n’asalawo okwetondera Maj. Gen. Kasirye Ggwanga eyakubye emmotoka ye amasasi wabula n’ategeeza nti tayinza na kumugamba bintu bya mukwano nga bwe yabimusibyeko kubanga amutwala nga kitaawe.

CATHERINE Kusasira ategeezezza
nga bwe yakuzibwa n'asalawo
okwetondera Maj. Gen. Kasirye
Ggwanga eyakubye emmotoka
ye amasasi wabula n'ategeeza nti
tayinza na kumugamba bintu bya
mukwano nga bwe yabimusibyeko
kubanga amutwala nga kitaawe.
Agamba nti yeetonze kubanga
awa Kasirye Ggwanga ekitiibwa
ate amulaba ng'omuntu omukulu
ow'obuvunaanyizibwa ate mujaasi
eyalwana.
Yagambye nti ekyasinze okumuluma
ye Kasirye Ggwanga
okugamba abantu nga ye Kusasira
bwe yamukubira essimu
ekiro n'amuyita ‘Hani..' nti bwe
yali akoze akabenje ku kkubo
n'okuvuga ng'atamidde olwo
ne yeefuula mukazi wa Kasirye
Ggwanga era poliisi n'emuyimbula
nga bakitegedde nti mukazi
wa munene. Kwe kutegeeza nti
takikolangako kubanga awo aba
ng'eyekwanira omuntu ate gw'awa
ekitiibwa eky'obuzadde.
Yasemba okwogera ne Kasirye
Ggwanga dda nnyo bwe yali akyayimbira
mu Eagles Production
kubanga yali mukwano gwabwe
ng'era abanene abalala mu
ggwanga omuli ne Gen. Katumba
Wamala.
Yagasseeko nti okwogera ebya
‘hani..' Kasirye Ggwanga taliimu
ddiini yonna ky'ava ayanguyirwa
okulimba. Talina lwe yamukubirako
ssimu kiro n'ebbanga lyonna
we baali boogeredde ate nga
biseera bya dda, baayogeranga
bya mirimu ng'abayambako
ng'abayimbi kubanga yali muwagizi
waabwe nnyo.
N'agamba nti yayagadde
kwewozaako bwewoza ng'ebintu
bitabuse kubanga naye akimanyi
enkolagana gye baabeeranga nayo
ng'abayimbi naye ng'omujaasi,
teyabanga ya kifere ate nga si ya
mukwano.
Kasirye Ggwanga yategeezezza
Bukedde nti, Kusasira yabadde
ayagala kuwamba mwanawe
kubanga Mumerika amubuzeewo.
Wabula Kusaasira yagambye nti,
ekyo kiri mu giraasi nti tekisoboka
kubanga naye baayita muyite
ng'olutalo lutandise e Makindye
ku Madirisa ku Mmande ekiro
ng'abaana ba Kasirye Ggwanga
okwabadde Zako Kasirye Ggwanga,
21 eyaakava mu Amerika
n'abalala bayombagana n'abakozi
be. Kusasira agamba nti tayagala
Kasirye Ggwanga kumuliyirira
kubanga emmotoka yagiddaabirizza
dda naye yeewuunyizza engeri
omujaasi oyo gye yaggyeeyo emmundu
ku nsonga etaliimu.
Yatangaazizza nti emmotoka eyo
teriimu na leediyo wabula abaana
ba Kasirye Ggwanga baabadde
bakola ffujjo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...