TOP

Owa KJT alidde obwassentebe bw'essaza lya Gomba

Added 1st February 2019

NG’EKIKOPO ky’amasaza kibindabinda okutandika mu mwezi gwa June , essaza lya Gomba lisattuludde akakiiko k’abantu 17 ababadde baliddukanya mu by’emizannyo okuva mu 2011, ne lironderawo abapya.

 Celestino Jackson Musisi kitunzi w'essanzi lye Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kabugo (wakati) obuvunaanyizibwa bw'essaza

Celestino Jackson Musisi kitunzi w'essanzi lye Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kabugo (wakati) obuvunaanyizibwa bw'essaza

 

 

Bya GERALD KIKULWE

NG'EKIKOPO ky'amasaza kibindabinda okutandika mu mwezi gwa June, essaza lya Gomba lisattuludde akakiiko k'abantu 17 ababadde baliddukanya mu by'emizannyo okuva mu 2011, ne lironderawo abapya.

Mansoor Kabugo atendeka abaana abato aba KJT ate nga y'akulira akademi zonna eziri wansi wa FUFA bwe yamezze banne ku kifo ky'obwa Ssentebe n'awera okuwangulira Gomba ekikwa ekyokutaano Ssingo kye yabasuuza omwaka oguwedde.

Celestino Jackson Musisi kitunzi w'essaza mu kutongoza olukiiko olupya ku lwokuna, yalukuutidde okubeera n'omulamwa kwe bagenda okutambuliza eby'emizannyo, okubeera n'enkola ennungamu etereka ebyafaayo by'essaza mu buwandiike ekitabaddewo ku lukiiko olukadde era ne yennyamira okulaba ng'essaza ly'e Gomba teririna kisaawe kitongole oba kimanyiddwa.

"Olukiiko olukadde lukoze kye lusobola naye kati obukulembeze nga bwe bucuuse, kye kiseera tulabe Gomba eyeesiimisa buli muntu, ewangula ebikopo ate esinza empisa," Musisi bwe yategeezezza.

Ssentebe omulonde Kabugo yakakasizza nga bw'agenda okutandikira ku kunoonya embaggubaggu z'abazannyi abanaasobola okuwangulira Gomba ekikopo, n'okuteekawo akademi y'essaza omugendanga okuva abazannyi ba ttiimu enkulu.

Abaalondeddwa

Mansoor Kabugo(Ssentebe), Joseph Kasibante(mumyuka), Wilberforce Ssekasiko(Muwandiisi), Barbra Namubiru(Maneja)Deo Lubega(Muwanika), Eriab Kamya(w'amawulire),Ronald Ssali(bya kikugu) n'abalala bangi.

Gomba y'ekyasinze okuwangula ebikopo ky'amasaza emirundi emingi(2004,2009,2014,2017) nga kati eyagala kyakutaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...