TOP

Lwakataka ayimbuddwa

Added 2nd February 2019

Lwakataka ayimbuddwa

 Lwakataka ng'ayimbuddwa

Lwakataka ng'ayimbuddwa

WAABADDEWO akatemba ku kkooti ento e Mukono, omuvuzi w'emmotoka z'empaka Posiano Lwakataka bw'abadde aleeteddwa okweyimirwa. Oluvannyuma lw'okumaliriza okusasula ensimbi 1,000,000/- kkooti z'easabye, omu ku basajja be yatwalidde omu ku baserikale b'ekkomera abadde akuuma akaduukulu ka kkooti, ekiwandiiko kya kkooti ekiragira okuyimbula Lwakataka.

Omuserikale yaggudde akaduukulu n'asoma erinnya lya Lwakataka bn'abuukayo omulundi gumu olwo basajja be abaabadde bamulinze edda baagenze bamwenyugako omu kw'omu nga bwe bamubugiriza.

Emmotoka eziwerako zaabadde zimulinze ku ggeeti ya kkooti nga zitokota era n'okuyingira munda baamusukumyemu busukumi nga batya nti yandikwatibwa nga yaakayimbulwa olwo ne basimbula nga be bagoba.

Wabula ye ssentebe wa Kiwanga Lwanda ng'ono Lwakataka gy'agambibwa okuzza omusango akiikidde kkooti ensingo okuyimbula Lwakataka kubanga tebalina kye baategedde nti, agenda kweyimirirwa. Lugolobi yalabudde Lwakataka obutadda ku kyalo kino kukolererako ffujjo ate akkirize okugondera ebiragiro bya kkooti.

Wiiki ewedde Lwakataka ne Muganda Sekitoleko baasindikibwa ku limanda mu kkomera e Kauga okutuusa nga February 4, 2019 ku misango gy'okwonoona ebintu oluvannyuma lw'omulamuzi okugoba abamu ku bakyala be abaali bazze okumweyimirira nti tebalina bisaanyizo kweyimirira muntu waabwe. Omusango guddamu wiiki ejja nga guli mu maaso g'omulamuzi Patience Koburunga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.