TOP

Kadaga asiimye akakiiko ka COSASE

Added 3rd February 2019

Kadaga asiimye akakiiko ka COSASE

 Sipiika Kadaga (ku ddyo) bwe yabadde mu situdiyo za Bukedde Fa Ma ku pulogulaamu Mugobansonga eyakubiriziddwa Ronald Ssebutiko.

Sipiika Kadaga (ku ddyo) bwe yabadde mu situdiyo za Bukedde Fa Ma ku pulogulaamu Mugobansonga eyakubiriziddwa Ronald Ssebutiko.

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga atenderezza akakiiko akabuuliriza ku bitongole bya Gavumenti aka COSASE k'agambye nti kakoze omulimu munene era kye yava yasalawo okubongera ekiseera bamalirize okunoonyereza kwe baliko ku bya bbanka ezaggalwa.

Yasinzidde ku Bukedde Fa Ma Embuutikizi mu pulogulaamu "Mugobansonga" ekubirizibwa Ronald Sebutiko ku Lwokutaano n'ategeeza nti yawalirizibwa okwongerayo ekiseera ky'akakiiko kano okutuusa ku nkomerero y'omwezi guno bamalirize okukola lipooti.

Yayogedde ku ky'omubaka wa Lubaga North, Moses Kasibante okugaanibwa okubeera omumyuka wa ssentebe w'akakiiko ka COSASE n'ategeeza nti y'avunaanyizibwa ku babaka bonna abatalina bibiina.

Yasalawo n'amusindika ku kakiiko akasunsula abantu ababa balondeddwa Gavumenti, nga Sipiika ye ssentebe waako yennyini. Omubaka wa Kawempe South, Mubarak Munyagwa yagambye nti y'agenda okukubiriza akakiiko ka COSASE nga bwe yalondebwa, kyokka nga ofiisi waakugiyingira nga Abdu Katuntu (Bugweri) amaze okuwaayo lipooti ku nkomerero y'omwezi guno.

Ku ky'amateeka agamu agayisibwa Palamenti kyokka ne gatassibwa mu nkola, yagambye nti buno si buvunaanyizibwa bwa lukiiko lwa ggwanga okugateekesa mu nkola, guno mulimu gwa Gavumenti. Ku nsonga y'ababaka abamu abalabibwa nga bannakatemba mu kifo ky'okuteesa, Kadaga yategeezezza nti ababaka bano si y'abalonda kuba naye abasanga Kampala era nga b'alina okukola nabo emirimu.

Kadaga yagambye nti waliwo ebintu Palamenti by'ekolako kyokka ne bigaanibwa amasiga amalala. Waliwo abawuliriza abeemulugunyizza ku muwendo gw'ababaka abasusse obungi mu Palamenti, kyokka yabagambye nti kino talina kya kukikolera nga disitulikiti empya, munisipaali ne Konsitityuwensi empya nga zitondebwawo ate ng'abantu be bazisaba.

Ku nsonga y'obupapula bwa airtime obwaggyibwaawo yagambye nti Palamenti yalagira dda Gavumenti okubuzzaawo n'etakikola era nga yalagidde minisita akwatibwako okunyonnyola Palamenti ku Lwokubiri ekyagaanisa kino.

Wadde ng'abawuliriza abamu baayagadde Kadaga ageraageranye Palamenti y'ekkumi ne Palamenti endala, kyokka yagaanye okukyanukula obutereevu.

Yagambye nti buli Palamenti ebeera n'ensonga ez'enjawulo z'etesaako. Kadaga era yeesamudde n'abantu abagamba nti yeewala okukubiriza Palamenti nga waliyo ebiteeso ebimukyawa n'agamba nti aboogera batyo balina okumuwaayo entuula ssatu ze yeebalama. ani eyakubiriza Palamenti omwali okulwana.

Simanyi aboogera batyo gye babiggya, kyokka ekikulu nze omulimu gwange ngukola bulungi" Kadaga bwe yagambye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...