TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Manya enjawulo wakati w'okusala, okusaala n'okusaala

Manya enjawulo wakati w'okusala, okusaala n'okusaala

Added 3rd February 2019

Manya enjawulo wakati w’okusala, okusaala n’okusaala

LABA bino okusala, okusaala n'okusaala. Bino byonsatule omusomi omwangu ayinza okulowooza nti byonna byatulwa kye kimu.

Nedda, buli kimu kyatulwa bwakyo.

1 Okusala, yatula ng'ayatula okuzina, okukuba, okuluma n'ebirala. Omuntu bw'akwata akambe ayinza okusala ekintu kyonna n'afunamu ebitundutundu.

Omuntu ayinza okukwata makansi n'asala olugoye, enviiri n'ebirala.

Waliwo okusala ekitegeeza abantu nga babadde boogereza omukazi ne babagamba nti, ‘‘ Muleetanga omutwalo nga gwa kintu gundi oba ensimbi bwe ziti; Okwo nakwo kusala.

Omuntu okuva ku ludda lw'oluguudo n'adda ku lulala okwo nakwo kusala. N'okuva mu kibiina kyobufuzi ekimu n'odda mu kirala okwo nakwo kusala. naye kino kisoko "okusala eddiiro".

2. Okusaala; kino kyatule ng'ayatula okuyiika, okuwuuma, okucuuma, okukanda n'ebirala. Kino kyo kitegeeza tugambe bw'oba ofumba amazzi naye ng'ogasaanikiddeko ekintu, bwe gaba ganaatera okwesera gasooka kusaala.

Eryo eddoboozi lye gakola kye kiyitibwa okusaala.

3. Okusaala; Kino kyatule ng'ayatula okusinda, okuyimba, okukeera, okusomba n'ebirala. Kino kikolwa Abasiraamu kye bakola nga basinza Katonda bakiyita okusaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.

Minisita Anywar atya okutam...

AMAZZI g'ennyanja Nalubaale eyabooga ne gasalako oluguudo katono galemese Minisita okutuuka ku mwalo gw'e Kamuwunga...

Omusumba atonedde Poliisi e...

Ne yeeyama okwongera okuteekawo enkolagana eyamaanyi wakati wa poliisi n'omuntu wa bulijjo.

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...