TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Diguli ya Nnnalulungi Quiin Abenakyo etankanibwa

Diguli ya Nnnalulungi Quiin Abenakyo etankanibwa

Added 5th February 2019

Abayizi b’e Makerere bawandiikidde ekitongole kya poliisi ekikulira okunoonyereza ku misango egy’enjawulo mu ggwanga okunoonyereza ku mivuyo mu ttendekero lino.

 Quiin Abenakyo

Quiin Abenakyo

Bya JALIAT NAMUWAYA

Bano nga beegattira mu kibiina kyabwe ekya ‘MUFSSA' omwegattira abayizi abaali bagobeddwaako mu ttendekero lino, wadde nga baamala ne bejjeerezebwa, balumiriza nti diguli eyaweebwa Nalulungi wa Afrika, Quiin Abenakyo, si ntuufu.

Okwogera bino baasinzidde mu lukuhhaana lw'abaamawulire lwe baatuuzizza ku Mmande mu Kampala.

David Musiri, nga y'akulira ekibiina kino annyonnyodde nti okusinziira ku kunoonyereza kwabwe ng'abayizi, Abenakyo yaweebwa diguli mu bukyamu kubanga alina amasomo ge yali yagwa mu mwaka gwe ogwokubiri nga yalina okugaddamu kiyite ‘RETAKE' bbo kye balumiriza nti yatikkirwa tannagaddamu, ekintu ekikyamu.

Bagenze mu maaso ne balaga ebiwandiiko eby'enjawulo Abenakyo bye yawandiikira akulira ettendekero ly'ebyobusuubuzi erya Makerere University Business School ng'asaba aweebwe omukisa atuule ebibuuzo bye yali yagwa, ekyennaku, okusaba kwe yakukola kikeerezi nga wabulayo ennaku bbiri zokka okutikkira abayizi era wano we baasinzidde ne bagamba nti mu buli ngeri Abenakyo talina ngeri gy'ayinza kubeera nti yasobola okutuula ebibuuzo bino.

Era nti y'ensonga lwaki baagala ekitongole kya poliisi kinoonyereze ku mivuyo gino.

Kyokka mu kwogerako n'avunaanyizibwa ku byamawulire e Makerere, Dr. Muhammad Kiggundu, yalaze nti tebannafuna kwemulugunya kuno mu butongole wabula ssinga banaakufuna, bajja kuteekawo okunoonyereza okw'enjawulo era ssinga kinaazuulibwa nti ddala diguli eyaweebwa Abenakyo yali mu butanwa bajja kugisazaamu.

‘'Ffe nga Makerere University enkalala z'abayizi zituweebwa zimaze okwekenneenyezebwa abakulira ebitongole n'amatendekero ag'enjawulo wansi wa yunivasite eno, wabula ensonga eno tugenda kugyekenneenya tulabe obutuufu bwayo," bwatyo Dr. Kiggundu bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...