TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow'amagye yeenyodde n'aba Bamugemereire e Mutungo

Ow'amagye yeenyodde n'aba Bamugemereire e Mutungo

Added 6th February 2019

ABAJAASI baalemesezza Omulamuzi Catherine Bamugemereire n’akakiiko ke okulambula ettaka ly’e Mutungo eririko enkaayana.

 Omulamuzi Bamugemereire ng’abuuza omujaasi.

Omulamuzi Bamugemereire ng’abuuza omujaasi.

Ettaka lino eriri ku bbulooka 237 e Mutungo, likaayanirwa Omulangira David Wassajja ne Dr. Muhammed Kasasa Buwule, so ng'ate enkaayana ze zimu zirimu n'abenju ya Ben Kiwanuka nabo abagamba nti lyabatwalibwako mu bukyamu.

Akakiiko kaakedde Mutungo mu zooni 4 mu kifo ekiyitibwa "ku kiduuka", we baakubye olukung'aana okuwuliriza abatuuze abali ku ttaka lino.

Olwavuddewo ne boolekera zooni 6 ku Tank Hill Road abantu gye beekubidde enduulu nga bagamba nti Dr. Kasasa yagula enju ya Wazalweki Bwengye, n'ateekamu amagye agabajojobya era agaaziba ekkubo lyabwe.

Omulamuzi yakulembeddemu Abaakakiiko nga bawerekerwako bassentebe b'ebyalo ebitudde ku ttaka lino eririko enkaayana.

Olwatuuse mu masang'anzira nga batunudde mu geeti, Ow'amagye n'abuukayo mangu ng'abagalidde emmundu n'awanika omukono nti ‘Sumaama' (muyimirire). Yayongedde okukangula ku ddoboozi nti temusala wano.

Abamu ku baserikale abakuuma Omulamuzi baasembedde w'ali ne bamunnyonnyola mpolapola ye n'ayanukula mu ddoboozi ekkangufu nti okubakkiriza okusukka wano nnina kusooka kubuuza bakama bange.

Munne yadduse n'ayingira mu geeti era waayiseewo akaseera katono n'akomawo ng'ali ne munne omulala.

Bino nga bigenda mu maaso, Aduumira poliisi mu Kampala n'emiriraano Moses Kafeero naye yabaddewo era yagezezzaako okunnyonnyola omujaasi ono ne yeerema.

Abajaasi bwe baaweze basatu, omupya eyazze naye yasoose kulagira bonna abaabadde basembedde baddeyo emabega. Abakuuma Bamugemereire wano nabo baamwanukudde nti tetuddayo.

Omujaasi yabadde akyafukumula Oluswayiri ng'awa ebiragiro, abakuuma Bamugemereire ne bamuzingiza.

Omu yabuuse omulundi gumu n'akwata emmundu y'Omujaasi banne ne bacwana nga bamulagira agite kyokka yagenze okugita nga bagiggyeeko magaziini.

Wano baakangudde ku maloboozi nga bamutegeeza nti oyo gw'otyoboola Mulamuzi gondera ebiragiro by'awa.

Omujaasi yalabise ng'Olugereza talukwasa bulungi kyokka nga buli lwe boogera Oluswayiri awuliriza.

Mu kavuyo wano banne baamuggyeko emmundu ne bagiddusa okugiyingiza mu geeti. Byagenze okutuuka wano nga n'Omulamuzi acwanye n'amulagira ayimirire amunnyonnyole.

Abaserikale abakuuma Bamugemereire baalagidde omujaasi okuwanika emikono ne bamwaza buli katundu k'omubiri n'empale ne bagikunkumula.

Yayimiridde mu maaso g'Omulamuzi ng'ayigulizza ne bamulagira okuyimirira obulungi ng'atunula butunuzi.

Oluvannyuma omukazi n'amutegeeza mu ddoboozi ery'omwanguka nti ‘Weewe funga' omujaasi olwakiwulidde ne yeesimba bwa ntoogo.

OMULAMUZI AMUKAZAKKAZA

Omulamuzi yayogedde mu Lungereza ng'Omujaasi ayanukula mu Luswayiri:

Erinnya lyo ggwe ani ?

Ow'eki. Nze Julius Katuliba.

Ennambayo mu magye eri ki?

RA 095301.

Oli ku ddaalaaki?

Kopolo.

Wano okuumawo ku lwa ani?

Ow'ekitiibwa nva mu ESO..

"Ogwaffe guwedde tutegedde engeri gye mweyisaamu. Ngenda kubitegeeza Pulezidenti, mbibuulire Omuduumizi w'amagye n'owa poliisi" Bamugemereire bino bye yayogedde nga bw'akyusa okuva mu kifo era teyayingiddeyo.

Kyategeezeddwa nti ekifo kino kikuumirwamu ebyama by'amagye mu kitongole ekiketta ebweru w'eggwanga ekya ESO.

Ettaka ly'e Mutungo eririko enkaayana liriko zooni 1, 2,3,4,5 ne 6. Amanyi e Mutungo osobola okumulagirira nti liva ku nnya, okutuuka ku kifo we lyawukanira ne Luzira.

Lyambuka okutuuka ku Tanka Hill ne lyetoloola okuddayo ku Nnya. Liweza kyenkana Square mayiro nnamba.

Olukiiko lwe baakubye mu kitundu lwabaddemu abakulembeze b'omu kitundu okuli bassentebe ba LCI, Meeya w'e Nakawa Ronald Balimwezo Nsubuga, omubaka wa Palamenti Michael Kabaziguruka, RCC Anderson Herbert Burora.

Balimwezo yategeezezza Omulamuzi nti naye alerembuka ne Dr. Kasasa eyamuwawaabira ku nsonga z'ettaka lino era omusango gukyali mu kkooti.

Burora yagambye Omulamuizi nti talina kweraliikirira olw'ebikolimo ebiva mu bagagga kubanga n'abanaku baataasizza okuwona okugobwa ku ttaka bamusabira ekiro n'emisana.

Ettaka erikaayanirwa lyali lya Ssekabaka Sr. Edward Muteesa II, nga kigambibwa nti yalitunda ng'ali mu buwanganguse ne lijja nga likyusa emikono okutuuka ku Dr. Kasasa ekintu ekiwakanyizibwa, Omulangira David Wassajja, so ng'ate ne Mutabani wa Ben Kiwanuka ayitibwa Maurice Kagimu alumiriza nti kitaawe ddala kituufu yagula ettaka eryo era kikyamu okugamba nti yalikumpanya bukumpanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi n’abamu ku bakwate. Mu katono naye yakwatiddwa.

Poliisi ekutte abavubuka n'...

ABASUUBUZI mu lufula y'oku Kaleerwe balonkomye akabinja k'abavubuka akabadde n'ebissi nga kigambibwa nti kabadde...

Mayanja eyattiddwa.

Bamukutte n'omutwe gw'omwan...

OMUSAJJA eyakwatiddwa ku bigambibwa nti yasazeeko omwana omutwe abuulidde poliisi engeri omusuubuzi w'emmwaanyi...

Nambooze, Bakaluba n'abakulembeze abalala nga bajaganya olw'obuwanguzi bwa NUP obwamaanyi e Mukono.

Bakaluba Mukasa awangudde e...

Rev. Peter Bakaluba Mukasa yalangiriddwa ku buwanguzi nga ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono wakati mu mizira...

Bafaaza abazze ne ambuleera...

BAFAAZA ku Lutikko e Lubaga bacamudde abantu abeetabye mu mmisa ey'okusabira Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula,...

Swengere ne bannamawulire b...

Bannamawulire abaayimbuddwa kuliko Kasolo ng'ono aweerezza pulogulaamu y'okumakya eya Kokoliyooko ku laadiyo ya...