TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obadde okimanyi nti Stevia ow'amazzi asobola okukuggya ku mwenge n'essigala ? Soma emboozi y'omukenkufu

Obadde okimanyi nti Stevia ow'amazzi asobola okukuggya ku mwenge n'essigala ? Soma emboozi y'omukenkufu

Added 9th February 2019

Obadde okimanyi nti Stevia ow'amazzi asobola okukuggya ku mwenge n'essigala ? Soma emboozi y'omukenkufu

WIIKI eziyise nzize nkulaga engeri gy'oyinza okufuna emigaso gy'obulamu ne ssente mu ssukaali wa Stevia. Nasemba nkulaze emigaso egiri mu Stevia ow'ensaano.

Leero kankubuulire ekyama ekiri mu Stevia ow'amazzi. Kino nkikola kuba bangi muwangudde endokwa za Stevia oluvannyuma lwokugula ddulaaya ne ttule kwe bamereza amamera byombi ebigula akakadde kamu.

Abantu ab'enjawulo ebiragalalagala bibabonyaabonya, abamu bibalemesa okulya, bibagobya ku mirimu ate abazadde abaana babeewagguddeko lwa kunywa mwenge, njaga, mayirungi, sigala n'ebirala. Abamu batuuka n'okubaggyamu obwesige.

Bangi bafubye okubivaako naye kigaanyi ate abeekase okubivaako baggyeemu obulwadde olw'okubivaako omulundi ogumu oba okubivaako nga tebeesiimidde. Bwe tuba twogera ku njaga, mulimu ekirungo kya ‘THC' kino agifuweeta kimugenda ku bwongo, obwongo ne bukola ekirungo ekireeta essanyu kye bayita ‘Dopamine'.

Ku mulundi ogusooka, ayinza obutafuna ssanyu eryo wabula gy'akoma okufuuweeta enjaga asobola okufuna essanyu lino n'ayongera okugifuuweeta ekivaamu kutta butoffaali bwa bwongo ekiyinza okumuviirako okutabuka omutwe. Kye kimu ne ku banywa omwenge, oli tafunirawo ssanyu ku ccupa esooka, wabula gy'akoma okweyongera n'essanyu okulinnya.

Sigala bwatyo, amayirungi n'ebirala. Ebirungo eby'enjawulo mu biragalalagala bino bituula ku bwongo buli kiseera abikozesa n'awulira ng'alina ekimusindika okwongera okubikozesa. Ggwe asoma bino, obadde okimanyi nti omuddo gwa Stevia guvaamu omubisi oguyamba omuntu okuva ku mwenge, enjaga, amayirungi, sigala n'ebirala? Stevia ow'amazzi alimu ekirungo kya ‘REB A' ekiyamba okutta obwagazi omuntu bw'alina ku biragalagala.

Mu mbeera eno omuntu okwewonya kino, alina okukozesa Emboozi z'omukenkufu Julius Nyanzi owa Prof bioresearch Stevia ow'amazzi (aba akamuddwa ne guba ng'omubisi ogufaananako amata). Omuntu ebiragalagala gwe byawasa atonnyeza amatondo 10.

Gatambula ne gatuuka ku bwongo ne gaziyiza ebiragalalagala okutuula ku bwongo olw'ekirungo kya ‘REB A' ekirimu. Wabula omuntu asigala abikozesaako mpola okutuusa lw'abivaako era tekitwala bbanga ddene n'aba nga takyabyagala.

Ebiragalalagala birina obuzibu kuba bikosa obwongo, n'otunuulira omusajja eyali omugezi ku mulimu nga kati omwenge gw'amumalayo yenna. Bireeta obutabanguko mu maka, omwami oba omukyala abikozesa n'alemwa okukola.

Omuntu anywa omwenge oba okufuuweeta enjaga n'abulwa n'amaanyi agakola emirimu egimuyimirizaawo n'abantu be.

Abamu ate bafuna obuzibu ne batuuka n'okulwala puleesa, abamu batabuka omutwe era e Butabika obasangayo. Ggwe abivuddeko, kozesa butto ava mu kalittunsi owa ‘lemon' omugattemu kaamulali omuddugavu okwoza omusaayi.

Prof Bioresearch bali ku 0779- 519652 / 0702-061652 oba kyalira edduuka lyaffe ku Equatorial Mall, Level 2, Edduuka nnamba 152.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...