TOP

Ssente z'okujjanjaba Bp. tezinnawera

Added 10th February 2019

Ssente z'okujjanjaba Bp. tezinnawera

ABAKRISTAAYO okuva mu Kkanisa ez'enjawulo bakuhhaanidde mu maka g'omugenzi Bp. Misayiri Kauma e Nsangi okusabira omumyuka w'Omulabirizi w'Obulabirizi bw'e Namirembe Hannington Mutebi omulwadde era ng'ajjanjabibwa e Bungereza nga yeetaaga essaala n'obuyambi bw'ensimbi.

Okusaba kuno kwabaddewo ku Lwokuna akawungeezi Abakristaayo mwe baasinzidde ne basaba Katonda akwatirwe ekisa omuddu we Omulabirizi amussuuse akomewo ayongere okugenda mu maaso n'okumuweereza.

Bp. Mutebi yatwalibwa e Bungereza okujjanjabibwa wabula ng'abasawo baategeeza nti obujjanjabi yeetaaga bwamaanyi nnyo era nga yeetaaga pawundi 190,000 (eza Uganda zisoba mu kawumbi) okumujjanjabwa.

Bannayuganda ab'enjawulo bwe baawulira nti ssente zino ze zeetaagisa baatandika okutema empenda okuzifuna. Mu kaweefube ono, Gavumenti yasuubiza pawundi 100,000. Omusumba w'Obusumba bw'e Nsangi, Daniel Dumba Ssentamu nga ye yakulembeddemu okusaba kuno yasiimye obweyamo bwa Gavumenti okuwaayo obuyambi kye yagambye nti eno ntandikwa nnene era n'alaga essuubi nti n'endala zigenda kulabika.

Eyakuliddemu okubuulira mu kusaba kuno, Rev. Samuel Nsonga era nga ye yabadde omusaale mu kukutegeka, yakubirizza Bannayuganda okubeera ab'ekisa ku buli muntu ssi nsonga oba bamumanyi oba nedda kubanga kino Katonda ky'ayagala nga oyo yenna akolera banne ebikolwa eby'ekisa naye Katonda alimukwatirwa ekisa.

Yasabye Bannayuganda abaagaliza Omulabirizi Mutebi ebirungi nti tebaggwaamu maanyi olw'obulwadde bwe wabula bongere okumusabira nga tewali kubuusabuusa Mukama agenda kumuwonya.

Yasiimye Abakristaayo abeewaddeyo ne basiiba nga beegayirira Katonda okussuusa Omulabirizi n'abasaba okwongera okusaba n'okusiiba nga Mukama agenda kusinziira ku bino amussuuse.

Ying. Moses Kulabako ng'atuula ku kakiiko k'ebyensimbi mu Bulabirizi bw'e Namirembe yagambye nti n'Obulabirizi tebutudde era buzze busonda ensimbi ez'enjawulo okujjanjaba Bp. Mutebi era n'alaga essuubi nti, bwe banaamala okufuna ssente Gavumenti ze yasuubiza omulimu gw'okunoonya ssente gujja kuba guwewuse olwo Omulabirizi afune obujjanjabi bwennyini bwe yeetaaga.

Geraldine Kawuma nnamwandu wa Bp. Kawuma era nga mwannyina w'Omulabirizi Harnington Mutebi yeebazizza bonna abababeereddewo n'obuyambi bwonna bwe babawadde n'agamba nti Katonda tajja kulema kubasasula mpeera.

Yategeezezza nti newankubadde nga ssente ezaasabibwa mu ddwaliro ziwulikika nga mpitirivu, ekituufu okusonda kugenda bulungi mu maaso era n'akakasa nti olw'obuyinza bwa Katonda ssente zino zigenda kuwera Omulabirizi ajjanjabibwe.

Mu kusaba kuno ssente 1,600,000/- ze zaasondeddwa mu mpeke ndala zaabadde mu bisuubizo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze, Bakaluba n'abakulembeze abalala nga bajaganya olw'obuwanguzi bwa NUP obwamaanyi e Mukono.

Bakaluba Mukasa awangudde e...

Rev. Peter Bakaluba Mukasa yalangiriddwa ku buwanguzi nga ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono wakati mu mizira...

Bafaaza abazze ne ambuleera...

BAFAAZA ku Lutikko e Lubaga bacamudde abantu abeetabye mu mmisa ey'okusabira Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula,...

Swengere ne bannamawulire b...

Bannamawulire abaayimbuddwa kuliko Kasolo ng'ono aweerezza pulogulaamu y'okumakya eya Kokoliyooko ku laadiyo ya...

Katikkiro Mayiga akunze aba...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubirizza abantu okuwandiika ebitabo by’olulimi Oluganda...

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...