TOP

Amasomero 3 gaggaddwa e Mukono

Added 11th February 2019

Amasomero 3 gaggaddwa e Mukono

EKITONGOLE ekirambula amasomero mu Munisipaali y'e Mukono kiggadde amasomero asatu olw'okusangibwa nga tegalina layisinsi egakkiriza kukola ng'ate tegali ku mutindo. Amasomero agaggaddwa kuliko; Don Integrated Nursery and Primary School e Goma, Springs of Hope High School Kiwanga ne Bright Hope Junior School e Misindye agali mu Divizoni y'e Goma.

Abaalambudde amasomero ye, Olivia Bulya owa Munisipaali ne Faridah Nassolo owa Divizoni y'e Goma. Bulya yagambye nti ekikwekweto baakitandika mu luwummula era amasomero ge baasanga nga tagali ku mutindo ne balabula bannyini go obutaggulawo.

N'agamba nti kati baddaayo mu masomero gano okuzuula abanyoomoola ekiragiro nga tebafuddeeyo wadde okutereeza ebyabalagirwa. Yalabudde abaddukanya amasomero agaggalwa obuteetantala kuggulawo n'agamba nti kye bagenda okukola kwe kubaggala ku mpaka n'okubakwata babatwale mu kkooti bavunaanibwe.

Ekikwekweto kigenze okukolebwa nga minisita w'ebyenjigiriza Janet Museveni amaze okulabula amasomero agatalina bisaanyizo obutaggulawo era n'alagira abalambuzi b'amasomero okuggala ago gonna aganeesisiggiriza ne gaggulawo. Ku ssomero lya Don Integrated, abayizi ba Bbebi, Mmido ne Ttoopu baabadde basomera mu kibiina kimu. Baabadde tebalina layisinsi nga n'ebizimbe ebipya ebizimbibwa tebaasooka kubifunira pulaani okuva mu Munisipaali.

Godfrey Onesmas nga ye nnannyini ssomero yagambye nti layisisnsi tebasobola kugifunira mu lunaku luno era ng'ali mu nteekateeka ya kugifuna. Ku ssomero lya Springs of Hope e Kiwanga, baasanzeewo omusomesa omu yekka ng'era ye mukulu w'essomero, ebibiina nga birimu enzikiza ng'ebisulo by'abayizi tebiri ku mutindo nga n'abayizi abawala basula ku ttaka.

Mu bisulo by'abalenzi ng'amadiriisa bassaamu bibaati nga n'emizigo kwe basula kuliko n'abantu abalala. Mu kisulo mwabaddemu ejjambiya abayizi gye baabadde batemesezza ffene. Kino Balya yakivumiridde n'agamba nti kissa obulamu bw'abayizi mu katyabaga. Akulira essomero lino, Joshua Muwonge yagambye nti abasomesa yabadde abasuubira okutuuka ku ssomero essaawa yonna batandike okusomesa.

Nassolo ow'e Goma yagambye nti basazeewo okuggala amasomero agatali ku mutindo kubanga lipoota yalaga nti gegasinga okuvaamu abayizi abakabassanyizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...