TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde bakubiriziddwa okujjumbira okugemesa abaana

Abazadde bakubiriziddwa okujjumbira okugemesa abaana

Added 11th February 2019

Abazadde bakubiriziddwa okujjumbira okugemesa abaana

GAVUMENTI neeralikirivu olw'abazadde okusulayo ogwannagamba mu kugemesa abaana ekintu ekyongedde okubasasanyamu endwadde nga n'abangi bafudde.
 
Kino kyasitudde abakungu ba Minisitule y'ebyobulamu mu ggwanga saako abasawo abegattira mu kibiina ekitumbula obujjanjabi bw'abaana obuli ku mulembe ( Uganda Paediatric Association- UPA)  okujja e Mmengo ku Lwokutaano February 8, 2019 okutandika enkolagana n'obwakabaka bwa Buganda okusala amagezi ku ngeri gyebayinza okwongera okukungamu abazadde okugemesa abaana.

" Okusinzira ku kunoonyereza okukoleddwa, okugemesa abaana kukidde ddala wansi nga wetwogerera kuli ku bitundu 55 ku 100 ate ekisinga okutiisa kwe kuba nti wano mu Buganda omuwendo guli ku bitundu 48 ku 100 n'olwekyo twetaaga okukolera awamu okutereeza ekizibu kino ekyolekedde okutatana omujjijji omuto,"Dr. Immaculate Ampaire nga mukugu mu by'okujjanjaba abaana mu minisitule y'ebyobulamu bweyategezezza.

 
E Bulange- Mmengo bano basisinkaniddwa Kamisona mu minisitule y'ebyobulamu mu Buganda, Dr. Fiona Kalinda eyategezezza nti betegefu okuddamu kaweefube w'okukunga abazadde okugemesa abaana nga Kabaka bweyakikola mu kubakunga okugemesa poliyo.
 
"Ng'Obwakabaka tulina emitendera mingi egy'obukulembeze okuli okuva ku Kabaka okutuuka wansi ku Mutongole ate n'obusolya bw'ebika okutuuka wansi mu nju. Tukubiriza abazadde okutwala ensonga y'okugemesa abaana ng'ekikulu kubanga kibawonya endwadde nkumu eziyitiridde ensangi zino. Bwogemesa omwana wewala n'okusasanya ensimbi ku baana abalwalalwala olw'omubiri okubeera omunafu nga tegusobola kulwnayisa ndwadde," Dr. Klainda bweyategezezza.

Dr. Ampaire yayongedde nategeza nti gavumenti eteeka mu malwaliro g'e Kampala eddagala erigema lya buwumbi butaano kyokka lingi liggwako ng'abaana tebagemeddwa wabula nebatwalibwa mu bulwaliro, abazadde gyebasasanyiza ensimbi ennyingi ezitalisasanyiziddwa nga bekweese mu ky'okutya okugemesa abaana.

 
Ye Dr. Ann Akullo ng'ono y'akulira UPA yategezezza nti okugemesa abaana tekirina kutiibwa kubanga eddagala eryeyambisibwa lisooka kwekenenyezebwa era wadde liyinza okubeera enkyukakyuka mu mubiri lyerireese mu baana, abazadde tebasanye kutya wabula basanye baddeyo mu malwaliro okuloopa ekibaddewo okusinga okwekweka n'okwogerera amafuukule enkola eno.
 
Okunoonyereza kuno kwakolebwa wakati wa 2016-2018 era nga kwalaze nti Karamoja eri ebitundu 73 ku 100, Acholi 65 ku 100, Teso 68 ku 100,Ankole 62 ku 100, Tooro 51 ku 100, Kigezi 72 ku 100, Bunyoro 67 ku 100, Busoga 45 ku 100,Bukedi 52 ku 100, Bugishu 48 ku 100.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...

Ssekandi ayozaayozezza Bann...

OMUMYUKA wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi ayozaayozezza Bannamasaka okusajjakula ne bafuna City nga ne disitulikiti...