TOP

Omubaka agugumbudde abasajja abasuulirira amaka

Added 12th February 2019

OMUBAKA wa Masaka mu Palamenti, Mary Babirye Kabanda agugumbudde abasajja abeegumbulidde omuze gw’okusuulirira bakyala baabwe ne babalekera obuvunaanyizibwa bw’okwerabirira n’abaana baabwe.

 Omubaka Mary Babirye Kabanda ng’ayogera eri abazadde b’abaana be baawadde bbasale.

Omubaka Mary Babirye Kabanda ng’ayogera eri abazadde b’abaana be baawadde bbasale.

Annyonnyodde nti kino yakizuulidde ku bungi bw'abakyala abamwetayirira okubayambirako abaana ne bamutegeeza nti abasajja olubazaalamu nga babasuulawo. 

Bino omubaka Kabanda yabyatulidde ku mukolo gwe yakwasirizza abaana bbasale mu masomero agenjawulo.

Muno mulimu aba yunivasite, pulayimale, siniya, amatendekero n'abasoma Obusaseredooti ng'obuyambi abuyisa mu kibiina kye ekya Babirye Kabanda Development Foundation.

Muky. Kabanda ne bba Charles Kabanda baategeezezza abazadde nti obuvunaanyizibwa bw'okulabirira abaana bwa babiri nga babakuliza mu mpisa bafuuke aboomugaso mu nsi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukazi lwe yeeronda n'atam...

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera...

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...

Aba Ebonies bagaanyi Corona...

Dr. Bbosa (mu katono) ng'amannya ge amatuufu ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enkola empya mwe...

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

NRM eggaddewo okugaba ffoom...

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kalagidde buli ayagala obubaka bwa Palamenti n'obwassentebe bwa disitulikiti okusooka...