TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bba wa Kulannama azzizza omuliro ku by'okumugoba

Bba wa Kulannama azzizza omuliro ku by'okumugoba

Added 12th February 2019

SSENGA Kulannama amaze emyezi esatu ng’ayawukanye ne bba, Abdul Lubega gw’amaze naye ennaku 487 mu bufumbo. Ku nnaku ezo wabula, yawulako 121 ze bamaze nga baawukanye kyokka nga bali ku mbirigo.

 Kulannama lwe yazaalira Lubega omwana mu ddwaaliro lya Paragon e Bugolobi.

Kulannama lwe yazaalira Lubega omwana mu ddwaaliro lya Paragon e Bugolobi.

Ensonga ziizino lwaki baayawukana era lwaki Kulannama akyasanguzza ssaawa eno. Okugoba Lubega, Kulannama yamaze kulayizibwa ku Bwapulezidenti bw'ekiwayi ky'abasawo b'ekinnansi ekirimu ebibiina mwenda ebigatta abasamize.

Kulannama yagattibwa ne Lubega e Kibuli mu September wa 2017 era balina omwana omu gwe yazaalira ku Paragon Hospital e Bugoloobi nga August 7, 2018 era kati wa myezi musanvu.

l Kigambibwa nti Lubega yakozesa erinnya lya Kulannama n'agenda mu mawanga ag'ebweru n'akolayo ebizigo nga Kulannama by'akola. Bino Lubega abigaanyi n'agamba nti ebyo bya boogezi talina gye yali akoledde bizigo bye birala era yeekolerera.

l Eby'ekisawo bw'ekinnansi Kulannama bye yagenzeemu n'atikkirwa ku Lwomukaaga abasawo abaakuhhaanye e Kigo, Lubega teyabisanyukidde ne ku mukolo teyabaddeko. Bukedde yamubuuzizza lwaki yakoze bw'atyo ku ssimu ng'omukolo tegunnaggwa yazzeemu nti, "Nze ndi ku mirimu gyange naye ye (Kulannama) bw'oba gw'oyagala, ali ku mikolo gye e Mutungo ow'e Kigo! Olwo Bukedde yabadde tannamanya nti baayawukanye ne Kulannama.

l Kulannama eyaweereddwa n'erinnya ly'ekinnansi erya Nabbona aga Kezia n'agaggyibwako, yabadde tayinza kugenda mu maaso na musajja atali musamize ng'ate ye akiyingidde. Ssenga okulayizibwa ku Bwapulezidenti yasooka kulayizibwa ku bw'ekifo ky'okulabirira abaana mu by'ekisawo by'ekinnansi era Jjumba Aligaweesa ye yamulayiza. Eby'embi, Aligaweesa yagenda ewa Maama Fiina n'amwetondera olw'okulayiza omuntu ye Maama Fiina akulira abasawo nga tategedde n'alayira obutakiddamu ate omuntu y'omu eyalayizza Kulannama w'omulundi ogwookubiri.

l Ensonda zigamba nti, Aligaweesa alina kaweefube w'okukyusa abantu okubazza mu ddiini y'ebyobuwangwa naddala abamanyiddwa kimuyambe okugitunda.

Yasookedde ku Kulannama ate ng'ono amulinamu essuubi ddene naddala okumutuusa ku Pulezidenti Museveni gw'ayagala okumuwa ettaka w'assa essinzizo, emmotoka, ssente, obukuumi n'olukunkumuli lw'ebintu ebirala.

l Kulannama yamaze dda n'okuwa ebyapa by'ettaka bibiri eri abasamize n'enzikiriza y'ekinnansi okuzimbako ofiisi n'ekifo ekirala eky'abatabuzi b'eddagala lya herbal.

l Kaweefube agenda mu maaso wa kunoonya musajja ow'eddiini y'ebyobuwangwa asaana Kulannama.

l Kulannama abadde n'obutakkaanya ne Lubega obuva ku bakyala ba Lubega abakulu ate nga Kulannama yayawukana n'abasajja bonna Lubega be yamusanga nabo. N'okwanjula okwaliwo mu 2017 n'embaga eyaddirira mu mwaka gwe gumu, Kulannama yategeeza nti Lubega ye muggalanda w'abasajja era abalala yabaleseewo. Lubega alina abaana abalala ate Kulannama alina omu era ye wa Lubega.

l Lubega agaba ebisanja Kulannama ky'atayagala era ebiseera bingi mu maka ge g'asinga okubeeramu mu ‘estate' y'e Kakungulu ku lw'e Ntebe, abadde abeerayo yekka.

Kulannama alina amaka e Kigo okuliraana awaabadde emikolo we wali ne fakitole y'ebizigo, amaka e Busunju nga ge makulu n'e Kakungulu.

Bwe byatandise

Ensonga esembayo eyatanudde Kulannama okwasanguza mu lujjudde nti ayawukanye ne Lubega ku Ssande, yatandise ku Lwamukaaga, Jjumba Aligaweesa eyeeyita Ssabakabona akulira abakkiririza mu nsinza ey'ekinnansi bwe yamugambye nti; "Tukansizza Ssenga Kulannama ave mu Busiraamu adde mu ddiini y'obuwangwa n'ennono kubanga tayinza kusigala mu Busiraamu ng'ate akulira emisambwa, aleete bba naye tumukanse ave mu ddiini ye.

Kino Kulanama kyamulemeredde n'asalawo okuva mu ddiini y'Obusiraamu gy'abadde yaakamalamu omwaka gumu n'emyezi esatu okuva lwe yawoowebwa ne Lubega.

Ssenga yategeezezza nti; Sisobola kukyusa mwana wa bandi (Lubega) eyazaalibwa mu Busiraamu kumuzza mu butonde. Kanjawukane naye afune Omusiraamu gw'awasa nange nja kufuna ow'eddiini yange.

Lubega by'ayogera

Eby'okwawukana tebigudde bugwi, mh…, ebintu ebitakwatagana na Katonda sibigenderako. Ekyo kyatutabula dda lwakuba mwakakitegeera.

(Kulannama) kye yakoze ekibi ennyo wabula ye talaka ey'okwogera ku mumwa eri buli muntu, eyo nkulu nnyo esinga n'empandiike era ekyo yakoze kivve.

Yabuuziddwa amahare ge yamuwa oba agenda kugamusaba yazzeemu nti; Amahare ge namuwa, soma (Surati Nisa 4: 17) byonna biri awo. Ku ky'ebisanja bw'azze abigaba, Lubega yazzeemu nti eby'amaka ge ye tajja kubyasanguza mu mawulire.

Ono si ye musajja Kulannama gw'asoose okugoba; Azze afumbirwa oba okuwasa abasajja ab'enjawulo kyokka nga tabafunamu mukisa era bangi bamubbye omuli n'omu eyamwegezaamu okumutta.

Maama Fiina awadde Kulanama amagezi

Kyanneewewuunyisizza okuva mu ddiini ye ng'ate ekyo si kituufu ky'ova olaba nga ye teyava mu yiye n'erinnya lye teyalikyusa n'omusajja yatuuka kufa ng'ali mu ddiini ye ate nga bali bombi.

Agamba nti abasamize empewo ze zibalaga abasajja abatuufu kwe kubuuza nti bw'aba Kulanama alina empewo, lwaki tezaamulagirawo musajja mutuufu? Nti omuntu ow'obuvunaanyizibwa yenna anyuma mufumbo era ye tamanyiiyo nzikiriza eragira muntu bw'akyusa eddiini ye ayawukane n'omuntu we. Kwe kugamba nti Kulannama yayingidde enzikiriza y'obuwangwa n'ennono naye teyayingidde kukulira basawo bakinnansi kubanga eby'ekisawo tofubutukira bifubutukire.

Yategeezezza nti agenda kukunga abasawo bonna mu ggwanga abategeeze ku bigenda mu maaso kubanga obwedda bamubuuza ekiddako. Nti ne Jjumba Aligaweesa eyamulayizza talina buyinza era abalina obuyinza mulimu, Muky. Nanyonjo ne Mw. Walakira abakaddiyidde mu by'obusamize.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...