TOP

Guvnor Ace awasizza Omuzungu omulala

Added 12th February 2019

Omuyimbi Guvnor Ace awasizza Omuzungu omulala okudda mu kifo kya nnamukadde Lisa gwe yayawukana naye.

 Guvnor Ace ne Linnea Lotlina nga balaga satifiketi y'obufumbo

Guvnor Ace ne Linnea Lotlina nga balaga satifiketi y'obufumbo

"Kiwedde aboogera mwogere ngenze ne bbebi wange ono kufa kwe kulitwawukanya " bino bye bibadde ebigambo by'omuyimbi Guvnor Ace (Ronald Ssemawere) amangu ddala nga yakagattibwa n'omwagalwa we omupya Linnea Lotlina enzaalwa ya Sweden.

Guvnor Aca ne Linnea ababadde abasanyufu bakira bakuba ebirayiro bwe beemoola mu ngeri y'okweraga amapenzi bagattiddwa mu mpeta ey'ekitala emisana ga leero ku offiisi ya ‘Diisi' ku Amamu House ku Goerge Street

Guno mulundi gwa kubiri nga Ssemawere agattibwa mu bufumbo bw'ekika kino omulundi ogwasooka gw'aliwo mu August wa 2015 yagattibwa ne nnamukadde Jonnson Ann Lisa naye  enzaalwa ye Sweden kyokka bano oluvannyuma bayawuukana.

Ssemawere amazze ebbanga ng'abeera Sweden gye yaali yagenda ne Lisa okutuusa mu December w'omwaka oguwedde bwe yakomawo mu Uganda.

Ono kigambibwa okudda ku buttaka kyava ku kufuna buzibu n'empapula ze ez'obutuuze ng'ayawukanye ne Lisa era okugattibwa ne Linnea akikoze kuteereza mpapula.

Kyokka Ssemawere bino abiwakanyiza ng'agamba okugattibwa ne Linnea akikoze kumukakasa nti ddala amwagala era gwasiimye mu bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.