TOP

Baweereddwa engule y'okukuuma obutonde bw'ensi

Added 13th February 2019

Baweereddwa engule y'okukuuma obutonde bw'ensi

ABA kkampuni ya Solar Now baweereddwa engule y'okutumbula embeera y'abantu n'okukuuma obutonde bw'ensi okuva mu Amerika.

Engule eyabaweereddwa emanyiddwa nga Bcorp eweebwa amakampuni agalafubanidde okukyusa embeera y'abantu mu by'obulamu, eby'enguna n'okukuuma obutonde bw'ensi mu nsi yonna.

Engule eno, yabakwasiddwa wiiki ewedde ku ofiisi zaabwe e Kansanga okuva mu kitongole ky'Abamerika ekimanyiddwa nga B-Lab ekirina ettabi e Kenya era abaakwasizza aba Solar Now engule eno, baavudde Nirobi mu Kenya.

Akulira ba kitunzi ba Solar Now, Andrew Bagenda yagambye nti, engule eno baagifunye olw'engeri gyebalabiriramu abakozi baabwe n'okufa ku Bannayuganda mu ngeri ey'enjawulo.

 

Mu Uganda, eno ye kkampuni ey'okusatu okuweebwa engule eno n'ebbaluwa ebakakasa nti byebakola bigasa abantu n'okukuuma obutonde bw'ensi ate mu nsi yonna, amakampuni 1600 gokka gegaakaweebwa engule eno.

Solar Now kkampuni y'Abadaaki etunda Sola mu Uganda era y'emu ku zigenda okwolesa byeekola mu mwoleso gwa Harvest Money e Namboole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...