TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri emmotoka gye yatomeddemu abaana abaabadde bagenda ku ssomero

Engeri emmotoka gye yatomeddemu abaana abaabadde bagenda ku ssomero

Added 13th February 2019

Engeri emmotoka gye yatomeddemu abaana abaabadde bagenda ku ssomero

 Kyakuwaire ( ku kkono)ng’ali ne maama we ku lunaku lwe yamaliriza nnasale.

Kyakuwaire ( ku kkono)ng’ali ne maama we ku lunaku lwe yamaliriza nnasale.

KITAABWE yakedde kubasiibula mu ssanyu n'abawa owa bodaboda okubatwala ku ssomero nga bulijjo nga tamanyi nti asiibula muwala we omulundi ogusembayo!

Wano nnyaabwe yabadde amaze okubambaza yunifoomu n'okubategekera eby'okulya n'agenda ku ssomero eddala gy'asomesa. Owa bodaboda yabaggye waka e Naluvule mu Kisenyi Zooni mu disitulikiti y'e Wakiso ne boolekera essomero lya Toto Kindergarten e Gombe - Kayunga.

Yayitidde ku luguudo lwa Hoima wabula aba yaakasala adde ku ludda lw'oluguudo olulala loole Magulukkumi kwe kubakoona okukkakkana ng'omu afiiriddewo. Abaana abaabadde ku bodaboda ye Precious Kyakuwaire, 11 eyafiiriddewo ate mutoowe Praise Mulindwa, 4 n'akutukako okugulu.

Eyabadde avuga bodaboda teyategeerekese. Omwaka oguwedde mu kitundu kye kimu akabenje kattirawo abaana babiri abaali bagenda ku ssomero, ddereeva w'emmotoka bwe yavugira ku ludda olukyamu n'abalumba gye baali batambulira n'abatomera n'abatta.

Akabenje k'omulundi guno kaabaddewo eggulo ku Lwokubiri ku ssaawa 1:00 ey'oku makya mu bitundu by'e Naluvule ku luguudo oluva e Kampala okudda e Hoima loole magulukkumi nnamba UAU 732V bwe yatomedde pikipiki ekika kya Bajaj Boxer nnamba UDQ 046R okwabadde abaana era omugoba wa bodaboda n'agwa mu mufulejje wansi.

Abayizi abaabadde ku bodaboda eno baagudde mu luguudo wakati era ddereeva wa Magulukkumi n'asalawo azze mmotoka emabega okubawonya naye nga buteerere. Bino byonna obwedda abikola nga waliwo ddereeva wa taxi nnamba UAU 832B eyamulabye ng'adda emabega n'alowooza adduka n'asalawo amukiike mmotoka era bwatyo n'amulemesa.

Ddereeva wa magulu kkumi byamusobedde n'agezaako okudda mu maaso abatuuze ne batandika okumukuba amayinja n'asalawo kwesibira mu mmotoka. Baagikubye amayinja ne bagyasa endabirwamu y'omu maaso.

Poliisi okuva e Naluvule yasitukiddemu n'etaasa ddereeva wa magulukkumi n'emuddusa mu kaduukulu kaayo olwo n'etandika okulaba bw'eggyawo emirambo n'emmotoka ebyabadde mu luguudo ekyavuddeko akalippagano k'ebidduka okumala ng'essaawa nnamba.

Okusinziira ku badduukirize abaasooseewo, Robert Mulindwa ddereeva wa taxi eyeekiise mu magulukkumi yavuddemu ng'agamba nti "Mukama mulungi abaana mbataasizza kati katulabe bwe tufaafaagana n'omusajja ono abadde abasse." Wano abadduukirize kwe kumuddamu nti: Abaana b'ogamba nti, otaasizza omu afiiriddewo ate omulala amenyese okugulu n'engatto n'evaamu!.

Yazzeeyo okutuukawo abaana we baabadde bagudde n'atema omulanga: "Ndabye nze woowe! Maama nze Katonda wange onnanzeeki! abaana bange b'otuusizza ku kino! Nazzizza gwaki ye!!!!!! .

Baasoose kulowooza nti asaaga naye bagenda okulaba ng'amaziga gamuyitamu era wakati mu kubutaabutana, yatuuse ku muwalawe ng'emmotoka emubetense ate mutabani we ng'akutuse okugulu alaajana nga n'owa bodaboda ali mu mufulejje naye ali mu kulaajana. Kabangali ya poliisi okuva e Wakiso yatuuse mu kifo kino n'eggyawo omulambo n'abaakoseddwa ne batwalibwa e Mulago wakati mu maziga okuva mu booluganda.

Nnyina w'abaana bano, Barbara Nakinobe yasoose n'alaajana engeri gy'abadde atobamu ne bba okunoonya fiizi z'abaana ate ne bagwa ku kikangabwa nga yaakabazzaayo.

Okusinziira ku basoose okumudduukirira era olwamaze okulaajana n'azirika. Bukedde we yatuukidde mu maka yasanze miranga na biwoobe ssaako okusoberwa! Wakati mu bulumi n'okuluma obujiji, maama yazze engulu era n'annyonnyola by'ajjukira nti: "Nakedde okubategekera nga bulijjo oluvannyuma ne babatwala ku ssomero nange ne neetegeka okugenda ku ssomero gye nsomesa e Nansana ku ky'e Wamala.

Mba ntuuka mu luguudo ne bantegeeza nti abaana bange bagudde ku kabenje omun'afa kwe kusalawo nziruke ku kkubo ndabe ekituufu", bwe yategeezezza. Yagambye nti yatuuse ku kkubo era ku baana be kwe yakubye amaaso n'asoberwa.

Poliisi y'ebidduka yaweerezza kasiringi n'eggyawo mmotoka ya magulukkumi ne takisi ne bitwalibwa ku poliisi e Wakiso ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Bino we bijjidde ng'akabenje akeefanaayirizaako bwe kati kaakagwa mu bitundu by'e Nansana. Nga October 3, omwaka oguwedde, abayizi 2 abaali basomera ku Little Diamonds e Nansana mmotoka y'essomero lya Precious Schools e Katooke yabatomera nga basala oluguudo okumpi ne poliisi y'e Nansana n'ebattirawo.

Abayizi abaafa kwaliko; Mesach Ssendagire, 6 ne Edgar Nyabongo, 7 abaali bakedde okugenda ku ssomero nga bulijjo. Mmotoka eyabatomera nnamba UBB 965X nga kwaliko n'omusomesa waabwe Phiona Owomugisha nga yali n'abaana be okuli;Kelvin Tugume ne Elvis Twesigye abaasimattuka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...