TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Buli lunaku lwandibadde Valentayini eri abaagalana

Buli lunaku lwandibadde Valentayini eri abaagalana

Added 14th February 2019

ESSANYU erikyasinze mu mukwano, lyeryo eribaawo ng’abaagalana beekwana.

 Kenneth Lukundo ne Nadia Ninsiima ab’e Najeera nga bali mu mukwano.

Kenneth Lukundo ne Nadia Ninsiima ab’e Najeera nga bali mu mukwano.

Beesuulira oluuso nga buli omu alinga alingiza munne, ng'amaaso bwe galimu ensonyi nga na buli omu bw'alowooza ku munne amera olutiko.

Naye nno ebirwa nga bwe bifuuka anti n'amalusu gafuuka engeregeze, embeera eno etuuka ne yeeyubula, naddala nga batandise okubeera bombi.

Oluusi eva ku musajja n'atandika okutunuza ekkabyo, ne bw'aba ali mu buliri ng'asaba munne akaboozi.

Oluusi eva ku mukazi nga takyesunga kubeera na munne ‘bakoole ku nakati w'e Namboole' nga bwe mutegedde.

Nga n'omusajja takyalina kye yeesunga mu buliri. Buli omu n'atandika okusonga mu munne ennwe nga ye kanaaluzaala w'embeera eno. Kati no Valentayini ky'eva esala eggoye ku nsonga eno.

Bangi lwe bagenda okuddamu okulaba ku ffeesi z'abaagalwa baabwe nga ziwoomeredde nga bwe zaali nga bakyekwana.

Lwe banaanyumya ne ku kaboozi akatuusa bakyala baabwe ku ntikko, ekintu abakazi bambi kye babadde baludde okufuna! Nga talina na kye yeesunga ku bimuli ebyo bye mugula ebinaawotoka enkya.

Naye era ng'abamu bakikola lwa buwaze kubanga mu bifo by'amasanyu gye bali balaba nga abalala babikola.

Abamu bajja kubakubirayo ne bbusu; mukyala wo oba omwami wo yeegombe engeri "kkapo" ebaddiridde gy'esindamu laavu!

Ebbe owuwo omutima...ebinaddirira tombuuza! Kale ebibuuzo ebiri ku mitima gy'omwagalwa wo kwe kwebuuza nti; Valentayini eridda ddi nate addemu okufuna ku ssanyu bwe lityo?

Ye abaffe ebbugumu erisituka nga mwekwana lifi ira wa? Ye abaffe watya nga buli lunaku mulufudde Valentayini?

Ggwe ate eridda ddi munno omubiite nga bwe wakoze ku luno? Bino bye bibuuzo ebiri ku mitima gy'abaagalana abaafunye kiri ekinyweza omukwano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...