TOP

Aloopye muganzi we okubuzaawo omwana

Added 14th February 2019

Nakijoba yagambye nti, baayawukana ne Kibirango mu 2017 nga bafunye obutategeeragana n’asigaza omwana era okuva lwe yatandika okusoma y’abadde amuweerera ng’era abadde agenze mu P2.

 Nakijoba ng'annyonnyola.  Mu katono ye mwana we Nakibirango eyabuziddwaawo kitaawe.

Nakijoba ng'annyonnyola. Mu katono ye mwana we Nakibirango eyabuziddwaawo kitaawe.

OMUSAJJA atabuse n'omukazi gwe yazaalamu omwana ku by'ensasula y'ebisale by'essomero n'amulabiriza nga yeewunguddemu n'abuzaawo omwana.

Sophia Nakijoba nnyina w'omwana yagambye nti, muwala we, Sonia Nakibirango 6, yabuziddwaawo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde oluvannyuma lw'okukyaza eyali bba,Yahaya Kibirango awaka e Nateete mu Makaayi zooni.

Yagambye nti, baayawukana ne Kibirango mu 2017 nga bafunye obutategeeragana n'asigaza omwana era okuva lwe yatandika okusoma y'abadde amuweerera ng'era abadde agenze mu P2.

"Mu lusoma olwokubiri omwaka oguwedde, namusaba annyambeko okusasula ebisale by'essomero naye eyasasulako omulundi gumu.," Nakijjoba bwe yategeezezza.

"Bwe namukubira yayogera bisongovu ng'abasajja abansigula bwe balemeddwa okundabirira kati musaba ssente za kwerabirira. Nayagala muyite awaka alabe omwana w'abeera aleme kulowooza nti njagala ssente ze," Nakijjoba bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti, yatuuka ku ssaawa emu ey'akawungeezi ne boogera okutuuka ku ssaawa nga 5:00 wabula yalaba tebakwataganye kwe kusalawo asooke yeewunguleko katono oluvannyuma baddemu okwogera yagenda okudda awaka nga Kibirango n'omwana tebaliiwo.

Yaddukidde ku poliisi y'e Nateete n'aggulawo omusango gw'okumubbako omwana ku fayiro SD 43/13/02/2019.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, okuwamba musango era banoonyereza singa banaakizuula nti, Kibirango omwana yamuwambye buwambi bwe banaamukwata ajja kuvunaanibwa ogw'okuwamba omwana okuva ku nnyina.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....