
NSUBUGAENGEGE mu nnyanja Nalubaale zirumbiddwa obuwuka obuz-irwaza ne zikenene okusinziira ku minisita w'obulimi, obulunzi n'obuvubi Vincent Bamulangaki Ssempijja.
Abavubi ku nnyanja Nalubaale mu mawanga okuli Kenya, Tanzania ne Uganda emitima gibeewanise olw'obulwadde buno obulumbye ebyennyanja ekika ky'engege ne zitandika okukonzi-ba n'okukenena.Minisita Ssempijja agamba nti, okusinziira ku bwiino gwe baakafunako, ekika ky'obulwadde obulumbye engege bugwa mu kika ekiyitibwa 'virus'.
Yategeezezza nti akawuka kano kaviirako engege obutakula bulungi n'obutagejja ne zibeera mu mazzi nga zikenena bukenenyi.Embeera eno etadde ne Uganda ku bunkenke era nga Gavumenti, yagambye nti bateekateeka okutu-ula mu lukiiko n'amawanga okuli Kenya ne Tanzania balabe bwe bayinza okunogera ekizibu kino eddagala mu bwangu ng'embeera tennasajjuka n'okusaasaana mu nnyanja endala.
Minisita yasinzidde ku mwalo gw'e Maye mu ggombolola y'e Nai-rambi mu disitulikiti y'e Buvuma.Era Ssempijja yategeezezza nti, Gavumenti esoosootodde en-teekateeka Gavumenti mw'egenda okuyita okuyamba abavubi naddala abakkiriza ne bava ku nvuba embi nga bano Gavumenti egenda kuba-wa ensimbi batandike okulunda ebyennyanja.
Ssempijja agambye nti Uganda eri mu kunoonyereza ku ngeri eno gy'ezze ekola mu nsi okuli Yisirayiri, Hungary ne Philippines gye basinze okugyeyambisa ennyo.Yasabye n'abavubi okwekolamu ebibiina ng'enteekateeka eno w'enaatuukira ejja kubayamba nnyoebyennyanja.Ssempijja agambye nti Uganda eri mu kunoonyereza ku ngeri eno gy'ezze ekola mu nsi okuli Yisirayiri, Hungary ne Philippines gye basinze okugyeyambisa ennyo.
Yasabye n'abavubi okwekolamu ebibiina ng'enteekateeka eno w'enaatuukira ejja kubayamba nnyo ng'eyita mu bibiina.Abavubi mu kiseera kye kimu baamusabye abeeko ky'annyonnyola ku nson-ga y'abavubi abakaaba olw'okutulugunyizibwa abaserikale ba UPDF ababagoba ku nnyanja olw'envuba embi.
Ye omubaka w'e Buvuma mu Palamenti Robert Migadde Ndug-wa yagambye nti ebbanga ddene baludde nga basaba Gavumenti ebeereko ky'ekolera abavubi abee-waddeyo ne bava ku nvuba embi okusinga okubaleka mu bbanga ate nga bwe banaabaleka mu bbanga bagenda kuddayo bavube obwen-nyanja obuto.
ebyennyanja.Ssempijja agambye nti Uganda eri mu kunoonyereza ku ngeri eno gy’ezze ekola mu nsi okuli Yisirayiri, Hungary ne Philippines gye basinze okugyeyambisa ennyo.Yasabye n’abavubi okwekolamu ebibiina ng’enteekateeka eno w’enaatuukira ejja kubayamba nnyo ng’eyita mu bibiina.Abavubi mu kiseera kye kimu baamusabye abeeko ky’annyonnyola ku nson-ga y’abavubi abakaaba olw’okutulugunyizibwa abaserikale ba UPDF ababagoba ku nnyanja olw’envuba embi. Ye omubaka w'e Buvuma mu Palamenti Robert Migadde Ndug-wa yagambye nti ebbanga ddene baludde nga basaba Gavumenti ebeereko ky’ekolera abavubi abee-waddeyo ne bava ku nvuba embi okusinga okubaleka mu bbanga ate nga bwe banaabaleka mu bbanga bagenda kuddayo bavube obwen-nyanja obuto.