TOP

Mukyala SK Mbuga ebibye bibi

Added 17th February 2019

Mukyala SK Mbuga ebibye bibi

 Sk Mbuga ne mukuala we

Sk Mbuga ne mukuala we

BAMBEGA ba poliisi okukwata muka SK Mbuga baasinzidde ku biwandiiko bya bbanka ebiraga ssente ze yafuna okuva ew'Omuzungu Stein Heinson alumiriza Mbuga okumubba.

Vivian Angella Chebeti Mbuga, yakwatiddwa ku Lwakuna nasooka akuumirwa ku poliisi y'e Katwe oluvannyuma gye yaggyiddwa ku Lwokutaano n'atwalibwa ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli gye yakoledde sitetimenti.

Bambega ba poliisi e Kibuli baamukunyizza okumala olunaku lulamba mu kasenge gye baggyirako abantu sitetimenti era bakira buli amaliriza ng'akwasa munne naye ng'amubuuza ebibye.

Abooluganda n'emikwano gya Vivian baasiibye Kibuli nga bagezaako okwegayirira abakulu omuntu waabwe ayimbulwe ku kakalu ka poliisi kyokka ne birema. Ebibuuzo bye baabadde bamubuuza, byabadde byetooloolera nnyo ku ssente obukadde bwa ddoola mukaaga (6,301,370) ze baafuna okuva ku Muzungu Stein Heinson gwe baayingiza ekitimba ky'okusuubula zzaabu e Uganda.

Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku misango, Vincent Ssekate yagambye nti, Vivian baamukutte ku misango gy'okutambuza ssente mu bumenyi bw'amateeka (Money Laundering) era omusango guno yaguzza n'abantu abalala babiri okuli bba Sulaiman Kabangala Mbuga ne Muhammad Mbabali atannakwatibwa.

Ssekate yagambye nti, okukwata muka Mbuga, kyaddiridde kkampuni ya bannamateeka eya Boman's Law Firm okugenda ku poliisi e Katwe n'eggulawo omusango ku fayiro GEF 133/2018 nga bavunaana SK Mbuga, Vivian Angella Chebeti ne Mohammad Mbabali okwekobaana ne bafera Stein Heinson.

Kigambibwa nti okuva lwe baafunza Mbuga e Dubai, Omuzungu yasindika ttiimu mu Uganda ebadde ekolagana ne poliisi mu kuyigga Vivian eyali yagattibwako erya Jalia oluvannyuma lw'okuwoowebwa Mbuga mu March 2017.

Yagambye nti, aba Boman's Law Firm, okutwala omusango ku poliisi, baali bakolera ku biragiro bya kkampuni y'e Sweden eya Einor Matson AB, Group of Companies. Omuzungu Stein Heinson gwe baafera, ye dayirekita w'eby'ensimbi mu kkampuni eno.

OBUJULIZI POLIISI BW'ERINA Bwe yatuusiddwa ku poliisi e Katwe ku Lwokuna ku ssaawa 2:00 ez'akawungeezi, abaserikale baasoose kumuggyako sitetimenti. Ku ssaawa ttaano ez'oku makya ku Lwokutaano, yaggyiddwa e Katwe n'atwalibwa e Kibuli.

Obujulizi poliisi kwe yeesigamye okuvunaana muka Mbuga kuliko sitetimenti ya bbanka omuzungu kwe yaweerezanga ssente, obutambi obwakwatibwa nga boogerezeganya n'Omuzungu, ebiwandiiko ebyakolebwa wakati w'Omuzungu, Mbuga, mukyala we ne Mbabali.

Ssente zaasindikibwa ku akawunti nnya (4) esooka nnamba 6004704132 eri mu Barclays Bank Uganda mu mannya ga Sky Cargo Net & Security Ltd. Ku akawunti eno, SK Mbuga yekka yaateekako omukono okuggyayo ssente era kwateekebwako ddoola 6,005,634.

Akawunti endala nayo eri mu mannya ga Sky Cargo Net & Security Ltd. Mu Barclays Bank Mbuga yekka yaggyayo ssente eri nnamba 6004704116 eno yateekebwako ddoola 57,739.

Akaawunti eyookusatu nayo eri mu Barclays Bank mu mannya ga Angella Chebet Viviene nnamba 6004031944 yateekebwako ddoola 149,997. Eyookuna, eri mu United Bank for Afrika nnamba 150017086 mu mannya ga Mommad Mbabali yateekebwako ddoola 88,000.

EBIBUUZO EBYABUUZIDDWA MUKA MBUGA; Bambega baasoose kumubuuza ku ddoola 620,000 mu za Uganda mu kiseera ekyo zaali 186,595,200/ ezaasindikibwa ku akawunti ye neeyazisindika n'agamba nti, Heinson ye yazimusindikira.

Bamubuuzizza nti yafuna ddoola endala 51,000 ku lunaku olwo n'aggya ku akawunti ye ssente 152,000,000/- ne bamulagira abannyonnyole ssente kye yazikozesa. Yagambye nti, ssente yaziggyayo kugula ttaka n'asaba amuweereze ssente endala kubanga Heinson yali amansa nnyo ssente, yalaba nga zonna zaamusaba ajja kuzimuwa.

Baamulaze ebifaananyi by'omuntu ng'ali n'abantu abalala ne bamubuuza oba gw'alaba mu kifaananyi amumanyi n'agamba nti mwana wa kojja we akolera ku Mabiriizi.

Baamubuuzizza oba alina bizinensi zonna zaddukanya naye ne ssente zonna ze yali amuteeredde ku akawunti. Bwe bamubuuzizza bino, yatandise okumira amangota eyabadde ayogeza amaanyi ebigambo ne bibula.

Baamulaze omukono gwe ku lupapula ne bamubuuza oba agumanyi n'akkiriza nti gugwe ne bamulagira okuwandiika wansi akawunti nnamba ye bageraageranye ne bye baabadde nabyo.

MUKA MBUGA AYOLEKEDDE OKUTWALIBWA E SWEDEN AVUNAANIBWE Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owesigire yagambye nti aba kkampuni ekola ku by'okutunda n'okugula amayumba mu Sweden eyitibwa Einar Mattsson AB yawaaba omusango gw'okubbibwako ensimbi era ng'esaba poliisi y'ensi yonna okukwata Mbuga ne mukyala we bavunaanibwe.

Owesigere agamba nti baakukolagana ne poliisi y'ensi yonna balabe engeri muka Mbuga gy'ayinza okutwalibwa e Sweden okuvunaanwa emisango egyamuggulwako.

Wabula ayogerera ekitongole kya poliisi ekya bambega, Vincent ssekate yategeezezza nti muka Mbuga ekiseera kyonna bagenda kumutwala mu kkooti wano mu Uganda nayo aggulweko emisango ky'okutambuza ensimbi mu ngeri emenya amateeka.

Kyokka Mu 2017, Vivian baamukwatira e Sweden ku misango gy'okubba Heinson ne bamutwala mu kkooti wabula bwe baamuyimbula ku kakalu naakomawo e Uganda, teyaddamu kulinnya Sweden era okumukwata, kyabadde kisuubirwa nti, ajja kuddizibwayo agattibwe ku bba.

Yagambye nti, bambega ba poliisi bakyanoonyereza bwe banaaba bamalirizza, bajja kumukwasa poliisi y'ensi yonna bw'enaaba emusabye ate bw'enaaba emalirizza, ejja kumubaddiza bamutwale mu kkooti avunaanibwe omusango gw'okutambuza ssente mu bumenyi bw'amateeka.

OBUTAKKAANYA NE FAMIRE YA MBUGA; Obutakkaanya wakati Vivian n'aba famire ya bba bukula buli lunaku nga bamulumiriza okutunda ebintu by'omusajja. Ebintu bya Mbuga okuli amayumba, ezimu ku mmotoka ze ez'ebbeeyi, Vivian azze abitunda kimu ku kimu ekyatabula aba famire ya Mbuga.

Kyokka Vivian agamba nti, abitunda mu makubo matuufu kubanga naye abirinako omugabo yabikola ne bba ate nga ye mukazi ow'empeta ate nti nga ne ssente ezisinga ezibadde zivaamu zibadde ziweerezebwa e Dubai okuyamba ku Mbuga mu misango gy'abaddeko.

Kigambibwa nti Mbuga yasasudde obukadde 1,600 okwetaasa ku misango gy'e Dubai mw'abadde attunkira n'Omuwalabu abadde amulumiriza okumufera. Wabula ate ab'e Dubai mu kifo ky'okumuyimbula ng'amaze okusasula eyamusibisa, ate bamwongeddeyo e Denmark gy'alina emisango gy'okufera ddoola 2,600,000 (obuwumbi 9 n'obukadde 500 mu za Uganda).

Kuno kw'ossa n'omusango ogusinga obuzibu ogw'e Sweden mwe bamuvunaanira okufera obukadde 53 obw'ensimbi z'e Sweden (Kronor) mu za Uganda zisukka obuwumbi 23 era nga kati ssente zonna awamu Mbuga ze bamuvunaana okufera zisukka obuwumbi 32

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu