TOP

Kyanjo assiddwa ku bujjanjabi obw'amaanyi

Added 17th February 2019

Kyanjo assiddwa ku bujjanjabi obw’amaanyi

 Kyanjo yali ajjanjabwa.

Kyanjo yali ajjanjabwa.

EYALI omubaka wa Makindye West mu Palamenti, Hajji Hussein Kyanjo assiddwa ku bujjanjabi obw'amaanyi okusobola okukkakkanya ku mbeera y'obulwadde bwa kookolo obwamutwaza e Buyindi ng'ataawa. Bamutadde ku nzijanjaba eyitibwa "Chemotherapy" ekozesebwa mu kukalirira abalwadde ba Kkansa.

Ku Kyanjo bakalirira kyenda abasawo kwe bagamba nti Kkansa kwe yakwata era bakola ekisoboka okutaasa obulamu bwe obubadde bweyongera okwonooneka. Kyanjo yatwaliddwa e Buyindi wiiki ewedde okujjanjabwa oluvannyuma lw'abasawo e Mulago okumukebera ne bamusanga ne kookolo w'omu byenda ate ng'atuuse ku mutendera omuzibu ennyo.

Kino kyatiisa nnyo aba famire nga bazudde omutendera gwokusatu kookolo kwe yali atuuse era ne bakolerawo okulaba nti atwalibwa e Buyindi okusobola okubukkakkanya kubanga omutendera guno obulwadde buba bunafuyizza nnyo omubiri.

Pulezidenti wa JEEMA era omubaka w'ekibuga kya Bugiri mu Palamenti, Asuman Basalirwa bwe bali ne Imam Kasozi mu kuyamba ennyo Hajji Kyanjo, yagambye nti embeera y'omulwadde egenda ewa essuubi kubanga kati aweebwa obujjanjabi obw'amaanyi era agenda kutereera.

Yagambye nti Kyanjo bwe yatuusibwa e Buyindi baatandikirawo okumukolako. Yagenda ne mukyala we yekka olw'okuba gwe baasobola okufunira tikiti abamu ku bantu abalala abaali muyambye tebaamugenderako. Kyokka embeera Kyanjo gy'alimu eyongera okweraliikiriza mukyala we n'emuleetera ennaku olw'okuba yagenda yekka ate buli kiseera y'amubeerako.

Mu kiseera kino, aba famire ye bateekateeka okusindikayo abantu abalala okuyamba ku maama . Omubaka Asuman Basalirwa yategeezezza nti bakolera wamu ne famire okulaba nga bataasa obulamu bwa mmemba waabwe omukukuutivu era omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu kayingo. "Nange ng'omuntu ndi mu nteekateeka kugenda kumulabeko kubanga kinkakatako nnyo,"Basaalirwa bwe yategeezezza Bukedde.

Yakakasizza nti era kituufu Kyanjo yateekeddwa ku byuma ebimukalirira okusobola okutta obuwuka obuleeta kkansa. Kisuubirwa nti ayinza okumala omwezi nga gumu ng'ali ku bujjanjabi buno ssinga embeera ye eba ekyuseeko, olwo abasawo balabe ekiddako," Basaalirwa bwe yagambye. Kyanjo yasimbula ku kisaawe ky'ennyonyi e Ntebe, wiiki emu emabega.

Ku olwo yatuukira Dubai, kyokka oluvannyuma ennyonyi n'esimbula buto era zagenda okuwera essaawa 7:00 ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde nga baatuuse dda e Buyindi. Bwe yali tannamalako kisanje kye ekisembayo, Kyanjo yalwala n'atwalibwa e Dubai gye yafunira obujjanjabi okumala e Kiseera oluvannyuma n'akomawo wabulang'ayogera olulimi terusituka.

Ekiseera ekiyise abadde azzeemu okwogera nga bamukyaza ne ku mikutu gya leediyo egy'enjawulo ku pulogulaamu z'okukubaganya ebirowoozo. Kigambibwa nti okuva Hajji lwe yafiirwa mukyala muto omwaka oguwedde obulamu bwe bwayogedde okunafuwa okutuusa wakati mu mwezi oguwedde we baamukeberedde ne bakizuula nti alina kookolo ali ku mutendera ogusembayo okubeera ogw'omutawaana.

EBIKWATA KU BULWADDE OBUMULUMA Colorectal-polyp cancer kika kya kkansa era kiri mu kifo kyakusatu mu bika bya Kkansa ebisinga okuba eby'obulabe. Okusinga kikwata abantu abalina emyaka 50 n'okudda waggulu.

Kkansa ono asinga kukwata ku kyenda ekinene ekiyitibwa ‘Large Intestine.' Okusinga ekika kya kkansa ono bakirabira ku muntu ng'ava omusaayi emebega buli lw'agenda emmanju. Abakugu bagamba nti kkansa ono asobolera ddala okujjanjabibwa nga bayita mu nkola y'okulongoosa, okukalirira nga beeyambisa amasannyalaze oba amaanyi ga ‘nyukiriya'.

Omuntu yenna abeera ateeberezebwa okubeera n'obulwadde obw'ekika kino asooka kuggyibwaako musaayi oba okusala akafi awateeberezebwa okuba nga we wali obulwadde buno oluvannyuma ne babiteeka mu byuma okwongera okukakasa oba omuntu obulwadde abulina oba nedda.

Ssinga omuntu bamuzuula mangu nti alina ekika kya kkansa kino, abasawo basobola okumulongoosa wabula bw'abeera yakula dda, nga bwe kiri ku Kyanjo, olwo bakozesa nkola ya kukalirira. Kkansa wa Kyanjo yabadde ku mutendera gwakuna era kyekimu ku byeraliikirizza aba famire ne mikwano gye ne basalawo atwalibwe mu Buyindi gy'aba ajjanjabirwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...