TOP

RDC, nze ndi kondakita naye ababbi mbamanyi

Added 17th February 2019

RDC, nze ndi kondakita naye ababbi mbamanyi

ABEEBYOKWERINDA mu Kawempe bakoze ekikwekweto ne bakwata omu ku bavubuka abali mu kibinja ekirondoolera abantu ku bodaboda ne bababbira ku ggeeti nga balinda okubaggulirawo.

Kiddiridde abantu okutwala okwemulugunya kwabwe mu ofi isi y'omubaka wa Pulezidenti e Kawempe, Deborah Nabukenya ne poliisi ez'enjawulo.

Aba poliisi baakoze omuyiggo okukakkana ng'omu ku bavubuka bano Kamada Bisegerwa omutuuze w'e Kyebando mu Katale Zooni akwatiddwa ne bamuteekako obunnyogoga. Ali mu kibinja kya B13 abafuuse ekizibu mu kukuba abantu.

Baamututte ku ofi isi ya RDC gye yategeerezza nti yaliko omubbi ow'omutawaana n'abivaamu ng'akola bwa kondakita obw'ebibaluwa kyokka ng'amanyi banne bonna bwe babba.

Nabukenya yategeezezza nti ekibinja kino kirimu abavubuka abasoba mu 60 nga batambulira ku Boda boda ne balondoola abantu ab'emmotoka ne babakubira ku ggeeti ne bababba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...