TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi

Added 17th February 2019

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi

AMASOMERO mu Kampala gali mu keetalo kw'ani anaawangula engule y'essomero erisinze okukyusa embeera z'abawala abato abaweddemu essuubi ezaatuumiddwa ‘Save the Innocence Challenge Grand Finale'.

Empaka ezigenda okufundikirwa, zaatandika mwaka guwedde abayizi okuva mu masomero mukaaga mu Kampala okwali Mt. St. Mary's Namagunga, St. Mary's College Lugazi, Home Land College Lugazi, Trinity College Nabbingo. Buddo SS ne Princess Diana High School bwebaasindikibwa e Kamuli okukyusa obulamu bw'abawala abaweddemu essuubi.

Abayizi bano, baalina okunoonya omuwala eyazaala nga tanaweza myaka 18 n'ava mu ssomero bamuyigirize engeri y'okwebezaawo mu bulamu n'engeri gyasobola okudda mu ssomero wadde yazaala.

Entikko y'empaka zino, egenda kubeera ku Theatre Labonita nga February 23, 2019 ku mukolo ogugenda okubeera ku kkapeti emyufu ng'abayizi bonna abeetaba mu mpaka zino n'amasomero gaabwe galaga byegaayitamu okuzuula abawala abaweddemu essuubi.

Empaka zino zaatandikibwawo Amabasada w'abawala n'abakyala mu Uganda Esther Nakajjigo era zizze zibeerawo ng'abayizi okuva mu masomero ag'enjawulo bagenda mu disitulikiti ezisinga okubaamu abawala abaweddemu essuubi.

Wilson Jaga omukwanaganya w'empaka zino, yalambuzza abayizi Theatre Labonita awagenda okubeera entikko z'empaka era naabalambululirra byebalina okukola n'olunaku engeri gyebanaalutambuzaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu