TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga ezaaviiriddeko Muhangi okuddamu okukwatibwa n'aggalirwa ziizino

Ensonga ezaaviiriddeko Muhangi okuddamu okukwatibwa n'aggalirwa ziizino

Added 20th February 2019

HERBERT Muhangi eyali owa Flying Squad yabadde yaakayimbulwa ku kakalu ka kkooti, abaserikale ne baddamu ne bamuyoola ne bamuzza mu kaduukulu.

 Muhangi ng’atuuka ku kkooti eggulo.

Muhangi ng’atuuka ku kkooti eggulo.

Bya MARGRET ZALWANGO NE JOSEPH MAKUMBI

Lt. Gen. Andrew Gutti akulira kkooti y'amagye ye yayimbudde Muhangi ku bukwakkulizo butaano bwe yeeyamye okutuukiriza.

Kyokka yagenze okufuluma nga abamwetaaga baamuteeze dda wabweru mu luggya lwa kkooti y'amagye e Makindye. Olwabadde okufuluma yabagudde mu ngalo ne bamukwata.

Bwe yamaze okusomerwa ensala ya kkooti ku kweyimirirwa nga yenna ajjudde essanyu yafulumye wabweru okunyumyamu n'abantu be abaabadde bazze okubeerawo ng'ayimbulwa era nga beetegefu okumuzza eka.

Amangu ddala Muhangi yalabye abantu be yalabise ng'abamanyi bulungi abaabadde bakulembeddwaamu omusajja eyabadde mu ngoye ezaabulijjo ne bigaalumbindi ebiddugavu n'amanya nti ebintu si birungi.

Yaddukidde mu ofiisi emu gye yeekukumye nga bw'alinda Gutti ne banne okuva mu lutuula lwa kkooti bamutaase ku basajja abaabadde bamunonye kyokka byonna byagaanye era abasajja ne bamutwala.

Abasajja bano ng'abamu baabadde ba militare poliisi nga bambadde ebyambalo ate abalala nga bali mu ngoye zaabulijjo obwedda beetala okulaba nga Muhangi talina waayita kufuluma ekyaleetedde n'abooluganda okutandika okutya.

Abeeyimiridde Muhangi okuli ACP Emmanuel Muhairwe akulira abakozi mu poliisi ne ACP Elvis Byamugisha akulira okunoonyereza mu poliisi baabaddewo ku kkooti era obwedda beetegereza embeera yonna kyokka baalabise nga nabo eky'okukola tebakirina.

Abaabadde banonye Muhangi, Gutti yabayise kyokka ebyavudde mu kafubo ako tebyategeerekese.

Kyokkakigambibwa nti tekaavuddemu bibala kutaasa Muhangi, olwo ne bamukulubbya.

Oluvannyuma Muhangi yayisiddwa mu mulyango gw'abakungu n'ateekebwa mu mmotoka eya kiragala eyabaddeko ennamba z'amagye n'abajaasi ba militare n'atwalibwa ng'awerekeddwa mmotoka endala ekika kya Premio. Abooluganda baasigadde mu maziga ng'ekyokukola kikyabuze kubanga baabadde bamanyi nti omuntu waabwe bagenda naye.

UPDF EYOGEDDE

Amyuka omwogezi w'eggye lya UPDF, Lt.Col. Deo Akiiki Asiimwe yategeezezza nti Muhangi alina emisango emirala egimuvunaanibwa y'ensonga lwaki yazzeemu okukwatibwa amangu ddala nga kkooti y'amagye yaakamala okumuyimbula.

Yannyonnyodde nti ekiseera bwe kinaaba kituuse, ajja kuddamu atwalibwe mu kkooti avunaanibwe emisango egyo egyazzeemu okumukwasa, kyokka teyagirambuludde.

Ensonda mu CMI zaategeezezza nti Muhangi y'omu ku bali ku fayiro y'omugenzi Andrew Felix Kaweesi ekyali mu kunoonyerezebwako era nga kino kye kyamukwasizza.

Yagambye nti tebayinza kumukkiriza kubeera bweru kubanga ayinza okutaataaganya okunoonyereza ku misango guno.

Ensonda zaagasseeko nti Muhangi yatwaliddwa mu kkomera ly'enkambi y'amagye e Makindye gy'ajja okukuumirwa okumala ekiseera okutuusa lw'anaaleetebwa mu kkooti.

Mu kunoonyereza kuno mulimu n'abeekitongole kya Scotland Yard abaaweebwa omulimu gw'okunoonyereza ku ttemu lya Kaweesi.

ACP Herbert Muhangi yakwatibwa June 20, 2018 n'atwalibwa mu kkomera ly'amagye gy'abadde akuumirwa ne boofiisa abalala okuli; Col Ndahura Atwoki owa Crime Intelligence, SSP Nixson Agasirwe ow'ebikwekweto mu poliisi, ,SSP Richard Ndaboine, ASP Patrick Muramira, AIP Jonas Ayebeza, ne D/C Abel Kitagenda.

Nga January 8, omwaka guno baasimbibwa mu kkooti y'amagye e Makindye ne bavunaanibwa emisango esatu okuli okulagajjalira emmundu bbiri ssaako okuwamba bannansi ba Rwanda okuli Lt. Joel Mutabaazi, Jackson Kalemera ne Sgt. Innocent Kaliisa abaali banoonya obubudamu mu Uganda ne babazza e Rwanda.

Bano era baavunaanibwa okuwa abantu emmundu nga tebalina kubeera nazo nga mu bano kuliko; n'okuwa Abudallah Kitatta emmundu mu bukyamu.

Kayihura ne Ndahura baayimbulwa kkooti y'emu era eyabadde eyimbudde Muhangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...