TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muto wa Ssemwanga, abadde amansa ssente mu Kampala bamutwaliddeku mpingu

Muto wa Ssemwanga, abadde amansa ssente mu Kampala bamutwaliddeku mpingu

Added 20th February 2019

BAAMUTADDE ku mpingu ne bamuggyamu n’engatto, nga toyinza kulowooza nti y’oli abadde amansa ssente mu bbaala z’omu Kampala!

 Kyeyune (wakati) n’abaserikale abamukuuma.

Kyeyune (wakati) n’abaserikale abamukuuma.

Eddy Kyeyune (Cheune) muganda wa Ivan Ssemwanga bwe yalabye embeera etuuse wano n'amanya nti bamugonzezza.

Baamukunguzizza okumutuusa mu kadduukulu ng'atambula alinga awenyera.

Abamuvunaana baatutte obujulizi bwe bamulinako omuli amaloboozi agaakwatibwa, ebifaananyi n'obubaka obutiisatiisa ku ssimu.

Bambega ba ISO abali ku mulimu gw'okunoonyereza ku Kyeyune baategeezezza nti, Nnaalongo Margie Kiweesi avunaana Kyeyune ng'ali ne Nasser Nduhukire amanyiddwa nga Don Nasser, baabawadde obujulizi bwabwe okuli amaloboozi nga Kyeyune awera nkolokooto okuwamba abaana ba Kiweesi naye okumutusaako obulabe bwe batamuwa ssente ze zateekeddwa okufuna ng'omugabo gwe ku ddiiru gye baakola ku mukazi Omurussia Noor Khan abeera e Dubai.

Kyeyune, Kiweesi ne Nduhukire, baali ba ttiimu emu nga bakolera wamu n'abantu abalala babiri Shira Looya ne Hassan Mutyaba.

Baakola ddiiru ku mukazi Khan nnannyini kkampuni ya Nat Metals DMCC ne bafuna ddoola obukadde buna n'ekitundu (ddoola 4,500,000) engabana n'ereeta obuzibu.

BAAGALA MMOTOKA BBIRI EZ'EBBEEYI

Nduhukire bwe yakwatibwa omwaka oguwedde ku by'okufera Omumerika Jonny Hill, mmotoka ze bbiri ez'ebbeeyi okuli Mercedes Benz Cross Country gye baggya ku Spear Motors e Nakawa ne Rolls Royce zaakwatibwa.

Kyeyune, y'eyali emabega w'Omumerika okukwata Nduhukire okumuggalira era y'alina obuyinza ku musango ogumuvunaanibwa.

Mmotoka zombi, zaatwalibwa ku poliisi y'e Ntebe gye zikuumirwa n'okutuusa kati.

Mikwano gya Kyeyune gyategeezezza nti, okumukwata okumuggalira, tebalina musango gwe bamuvunaana, baagala akkirize abawe emmotoka ezaakwatibwa.

OMUMERIKA AVUNAANA NDUHUKIRE AKOMAWO

Okukwatibwa kwa Kyeyune kwasaasaanye mu mikwano gye mu Uganda, Amerika ne South Afrika.

Mu kusaasaana amawulire gatuuse ne ku Mumerika Jonny Hill alumiriza Nduhukire okumubba ddoola 700,000 mu ddiiru ya zaabu ey'ekifere.

Jonny Hill olwawulidde nti Nduhukire yaavunaana Kyeyune, yagambye nti agenda kukomawo aweebwe obuyinza ku bintu bye ebyakwatibwa.

Yagambye nti, amateeka ga Uganda akimanyi bulungi tegasaagisa babbi ne yebuuza lwaki Nduhukire ayinaayina nga yamufera ssente empitirivu.

KYEYUNE AGGYIDDWAAKO SITATIMENTI

Eggulo, bambega baasiibye bamukunya annyonnyole ekigendererwa mu kutiisatiisa okutuusa obulabe ku Kiweesi n'abaane be.

Yakanze kwewozaako nti talina kyamanyi ku misango egimuvunaanibwa nga buteerere.

Baamukutte ali mu mpale ya bbulu ow'amazzi n'omujoozi omuddugavu. Tewali muntu akkirizibwa kumulaba. Abamukuuma bajaasi bamutaseka babiri abamukuuma n'emmundu.

EBYA MUKA MBUGA NABYO BIRANZE

Ku Mmande, omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Vincent Ssekate yagambye nti, waliwo ttiimu ejja mu Uganda okuvunaana muka Sulaiman Kabangala Mbuga amanyiddwa nga SK Mbuga, Vivian Angella Chebet.

Yannyonnyodde nti, mu bye baazudde akawunti Heinson okuzisindikako ssente zaali zakaggulibwawo ng'eya Mbabali eri mu United Bank of Africa yagiggulwawo nga May 12, 2015, ssente olwagendako zonna ne ziggyibwayo mu biwagu nga May 18, 2015.

Ssekate yagambye nti kyazuuliddwa nga ssente zino Chebet ne Mbuga baazikolamu embaga makeke, okugula ettaka lye baateeka mu manya gaabwe n'emmotoka ez'ebbeeyi.

Ssekate yagambye nti okunoonyereza okubulayo ye poliisi okugenda mu kkooti enkulu efune olukusa okuteeka envumbo ku akawunti za Mbuga , Chebet ne Mbabali okwagenda ssente, okugenda mu ofiisi y'eby'ettaka, mu kitongole ky'ebyemisolo, mu bbanka enkulu, n'ebitongole ebirala okwongera okukuhhanya obujulizi obubaluma

ENGERI CHEBET GYE YAFERAMU SSENTE

Ssekate yagambye nti Chebet yakwana Stein Heinson n'amutegeeza nga bw'alina baganda be abasobola okumuguza zaabu nga wano yayanjulayo, SK Mbuga nga mwannyina (Muko) oluvannyuma ssente ne zitandika okusindikibwa ku akawunti ezenjawulo.

Yategeezezza nti Heinson yajjako ne mu Uganda ne bamulambuza ebitundu eby'enjawulo ne bamulaga ne zzaabu naamukebera nga ddala mutuufu naddayo e Sweden alinde emmaali gy'ataafuna.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...