TOP

Abamerika bakubye Trump mu mbuga

Added 20th February 2019

ABAKULEMBEZE b’amasaza g’America 16 bawawaabidde Pulezidenti Donald Trump nga bamulumiriza okwagala okukozesa obubi ssente z’omuwi w’omusolo ng’ayagala okuzimba ekisenge kya bbugwe ayawula America ku Mexico.

Wiiki ewedde Trump yalangiridde nga bwe kijja okumwetaagisa okweyambisa ezimu ku ssente z'ebigwa bitalaze okuzimba bbugwe.

Kyaddiridde olukiiko lwa Congress okugaana okuyisa obuwumbi bwa ddoola za Amerika 5.7 ez'okuzimba bbugwe.

Kino abakulembeze b'amasaza baakiwakanyizza ddala wadde nga kye kimu ku bisuubizo Trump bye yasuubiza abalonzi ng'anoonya obululu.

Trump yalangiridde ng'ensonga eno bweri eyaakatyabaga mu ggwanga nga kimwetaagisa n'okweyambisa ssente z'ebigwa bitalaze okusobola okujja ekizibu kino mu ddiiro.

Abaawaabye omusango ku Mmande mu ssaza ly'e California baagala kuyimiriza Trump obutagenda mu maaso na nteekateeka ze nga bagamba nti talina buyinza bukyusa ssente ezaayisibwa edda olukiiko lwa Congress era nga ne kye yayise ekiseera ekyakatyabaga tekyetaagisa.

Ssaabawolereza w'essaza ly'e California, Xavier Becerra yalabudde Trump akomye okutwala ofiisi y'obwapulezidenti ng'obwakazanyirizi.

Yaweze nti bagenda kukozesa amakubo g'amateeka gonna okuwakanya enteekateeka eno.

Amasaza amalala agaaloopye kulilko; Colorado, Connecticut, Delaware, Hawaii, Illinois, Maine, Maryland, Minnesota, Nevada, New Jersey, New Mexico, New York, Oregon, Virginia ne Michigan.

Mu mbalirira ya Trump kyetaagisa obuwumbi bwa ddoola 23 okusobola okuzimba bbugwe aweza obuwanvu bwa mayiro 2000.

Ensalo eno agamba nti eyingiza abantu abajja n'ebiragalalagala mu Amerika.

Trump yawera dda nti wadde wakyayinza okuvaayo abamuwawaabira olw'okuzimba bbugwe, kyokka teyali waakumuyimiriza kuba kyali kigendereddwaamu okunyweza byakwerinda.

Kyokka abamuwakanya bagamba nti bangi ku bantu abali mu America mu bukyamu beebo abaasigalayo oluvannyuma lwa Viza zaabwe okuggwaako nga n'ebiragalalagala ebisinga okuyingira mu ggwanga biyita ku mwalo kyokka teyali waakumuyimiriza kuba kyali kigendereddwaamu okunyweza byakwerinda.

Kyokka abamuwakanya bagamba nti bangi ku bantu abali mu America mu bukyamu beebo abaasigalayo oluvannyuma lwa Viza zaabwe okuggwaako nga n'ebiragalalagala ebisinga okuyingira mu ggwanga biyita ku mwalo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono