TOP

Bawambye owa MTN ne bamutta

Added 22nd February 2019

Bawambye owa MTN ne bamutta

 Nnamwandu Mugide n'abaana be.

Nnamwandu Mugide n'abaana be.

ABATEMU bawambye omukozi wa MTN ne bamufumita ebiso ne bamutta. Ettemu lyabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokuna, mu Kisalosalo Zooni e Kyebando. Julius Shuwu 39, abadde akolera ku ttabi lya MTN ku Jinja Road, mu kizimbe ekyali ekya kkampuni ya BAT. Omugenzi alese abaana basatu ne nnamwandu Joyce Mugide.

NNAMWANDU ATTOTTOLA EBYABADDEWO

Baze yabadde yeebase mu ddiiro nga nze neggalidde mu kisenge n'abaana. Nagenze okuwulira nga mu ddiiro waliyo akabuguutano.Naggudde oluggi ne hhenda mu ddiiro amaaso gaatuukidde ku basajja babiri abaabadde bambadde ebikooti nga beesibye n'obukookolo ku maaso. Nabasanze balwanagana ne baze nga bamulagira afulume ebweru.

Namugambye nti, tageza n'afuluma kuba baabadde bayingiriddwa ababbi. Abasajja bano nteebereza nti baayingidde mu nnyumba yaffe ne beekweka awantu, baasinzizza baze amaanyi ne bamufulumya ebweru. Nabagoberedde nga bwe nkuba enduulu era omu ku baliraanwa yafulumye n'anneegattako ne tugoberera.

Twatambuddeko akaseera, ekiseera ne kituuka ng'abasajja ne baze tetukyabalaba olw'enzikiza eyabadde ekutte nga n'enkuba etandise okutonnyerera. Muliraanwa gwe nabadde naye yaleese ekirowoozo tukome awo tudde eka eri abaana tulinde ekinaddirira era kye twakoze. Nakomyewo ne neggalira n'abaana kyokka ng'omutima gundi bweru simanyi kinaatuuka ku baze.

BALIRAANA BASANGA OMULAMBO Ku makya ku ssaawa nga 11:00 nga bukya, abatuuze abaabadde bakedde okugenda ku mirimu n'okutwala abaana ku ssomero, baagudde ku mulambo ogwabadde gusuuliddwa mu kikubo eky'ettaka ku kyalo kyaffe. Olw'okuba ng'abamu ku batuuze baabadde bawulidde ku nduulu ku mayumba ga Leonard Byamukama, baamukubidde essimu, eyazze mu bwangu ne bakebera omulambo era bwe yagwetegerezza, n'alaba nga ye mupangisa we.

 

Omugenzi yafumitiddwa ekiso ku mutima n'ekirala mu mugongo era wabbali awo waasangiddwaawo ekiso, kyokka ng'abatemu bano tebalina kintu kyonna kye baamuggyeeko. Abatuuze bateebereza nti ziyinza okuba empalana z'emirimu, kyokka nga n'okutuusa kati tewannabaawo muntu yenna gwe baakutte ku ttemu lino", Mugide bw'alombojja Leonard Byamukama landiroodi w'omugenzi yategeezezza nti, abadde yaakamala emyaka etaano ku nnyumba ze kyokka nga tamufunangamu buzibu bwonna era abadde musirise nnyo.

BAKOZI BANNE BOOGEDDE James Wasoti ng'ono y'abadde mukama wa Shuwu mu kitongole Dismus Akanyijuka: Kitalo nnyo ekya mutuuze munnaffe, naye nsaba poliisi enoonyereze ku ngeri abantu bano gye baasobodde okuyingira mu nnyumba n'okumanya ekigendererwa kyabwe ekituufu okumuzinda. Richard Kivumbi: Nsaba poliisi etuyambe okuzuula abantu ab'ettima bano era bw'eba ebakutte baweebwe ebibonerezo ebigendera ku kikolwa kye baakoze.

Omuntu gwe basse teyabadde na musango. Gertrude Mayombwe: Kitalo ekya muliraanwa wange ate kasitoma wange kubanga aludde ebbanga ng'ankimako amazzi. Tabadde musajja mwogezi era ebiseera ebisinga abadde musirise ate nga wa nkulaakulana n'okusoma.

Charles Mugambe: Omusajja abadde talina mutawaana ku kyalo. Twebuuze ekyagendereddwa okumutta nga talina mutawaana. Singa abazigu baabadde n'ekigenderwa kya kubba ennyumba bandigyeze.

Abantuuze kye bagamba kya Exquisite Solution ekirabirira abamu ku bakozi ba MTN, yagambye nti, tebayinza kumanya kyavuddeko ttemu lino. Ssentebe w'ekyalo Richard Kasaijja Kirabira yategeezezza ng'obutemu obufaananako bwe buti bwe bubadde buludde okubaawo mu kitundu kyabwe n'ategeeza nti obubbi obubadde bubasumbuwa bwebwo obw'okubba obuntu obutono.

Yagambye nti obutemu buno buyinza okubeera obupange bw'ogoberera abatemu bano engeri gye baayingidde mu nju. Omulambo gwatwaliddwa e Mulago okwekebejjebwEkitongole kya MTN kizze kifuna ebizibu naddala Gavumenti okugoba abamu ku bakozi baakyo ab'amadaala aga waggulu ne balagirwa okudda mu mawanga gye baava ng'entabwe eva ku kubateebereza nti beenyigira mu bikolwa ebisekeeterera gavumenti bagisuule.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...

Eyanzaalamu abalongo ansuddewo

NZE Sylvia Nayiga, mbeera mu zzooni I e Kawaala mu Kampala. Omusajja anneefuulidde oluvannyuma lw’okunzaalamu abalongo....

Pulaani y'okulonda mu 2021 ...

KU Lwokuna nga January 14, 2021 lwe lunaku lw’okulonderako ababaka ba Palamenti mu ggwanga lyonna. Omulamuzi Simon...