TOP
  • Home
  • Agawano
  • Etteeka ku misaala gy'abakozi erya 'Minimum Wage Bill' litaddewo obunkenke

Etteeka ku misaala gy'abakozi erya 'Minimum Wage Bill' litaddewo obunkenke

Added 23rd February 2019

Akakiiko ka palamenti akaweebwa omulimu gw’okwetegereza etteeka lino kaali kaleese ekirowozo nti hawusigaalo n’omupakasi w’awaka basasulwe ensimbi ezitakka wansi wa 130,000/- buli mwezi kyokka kino kyaggyibwamu ne kisalibwawo nti akakiiko ak’enjawulo akanassibwawo ng’etteeka lino litandise okukola ke kanaagereka ensimbi zino.

 Pulezidenti bwe yali ayogera ku byokwerinda mu Palamenti.

Pulezidenti bwe yali ayogera ku byokwerinda mu Palamenti.

ETTEEKA erissaawo essalira ku ssente z'omusaala ogusookerwako buli mukozi gwalina okutandikirako lyayisiddwa mu Palamenti eyakubiriziddwa omumyuka wa sipiika Jacob Oulanyah ne kiwa Bannayuganda essuubi nti abakozi bawonye okunyunyuntibwa bakama baabwe.

Ku buli mulimu kujja kuteekebwako ssente ezisookerwako ezijja okugerekebwa akakiiko ak'enjawulo akajja okussibwawo etteeka bwe linaaba liyisiddwa, omukozi wa waka (house girl)ajja kuba n'ensimbi ez'essalira zaalina okusasulwa obutakka wansi waazo era nga kino kijja kukaluubiriza abantu bangi okukozesa bahawusigaalo n'abapakasi b'awaka.

Akakiiko ka palamenti akaweebwa omulimu gw'okwetegereza etteeka lino kaali kaleese ekirowozo nti hawusigaalo n'omupakasi w'awaka basasulwe ensimbi ezitakka wansi wa 130,000/- buli mwezi kyokka kino kyaggyibwamu ne kisalibwawo nti akakiiko ak'enjawulo akanassibwawo ng'etteeka lino litandise okukola ke kanaagereka ensimbi zino.

Etteeka eriyitibwa ‘Minimum Wage Bill, 2015', eribadde likandaaliridde mu Palamenti lyayisibwa awatali babaka kwesalamu. Lirindiridde Pulezidenti okulissaako omukono litandike okukola.

Etteeka lino liragira omukozesa alemereddwa okusasula omukozi ssente ezessalira okusibwa emyaka egitakka wansi w'esatu oba okuwa engassi ya bukadde 10 oba byombi.

Etteeka lino ligenda kusikira etteeka eriyitibwa, ‘Minimum Wages Advisory Boards and Wages Councils Act' eryabagibwa mu 1957 nga Uganda tennafuna bwetwaze.

Etteeka ekkadde eriyitibwa ‘Minimum Wages Advisory Boards and Wages Councils Act' lyaggwa dda ku mpagala kubanga lwe lyabagibwa mu 1957, lyassaawo essalira ya ssiringi 33 ng'omusaala ogusookerwako era mu 1984 bwe kyazuulirwa nti omusaala ogwa 33/- tegukyakola makulu, omusaala ogusookerwako gwalinnyisibwa okutuuka ku 6,000/-, wabula mu 1987, Gavumenti bwe yawanyisa ssente, siringi 6,000/- zaafuuka 60/-.

Ababaka ab'enjawulo okuviira ddala mu 1996 mu Palamenti eyoomukaaga bazze bagezaako okuwoma omutwe mu kuleeta ebbago ly'etteeka ku musaala ogusookerwako kyokka nga balemesebwa nga Gavumenti egamba nti ensonga eyo egikolako okutuusa Omubaka Rwakajara lwe yeevuddemu n'aleeta ebbago ly'etteeka erya ‘Minimum Wage Bill mu 2013'.

Olw'akazito Gavumenti ke yassibwako ab'ebibiina by'Obwannakyewa, ebibiina by'abakozi n'abalala, mu June 2015, olukiiko lwa Baminisita lwayisa ekiteeso ekissaawo akakiiko okwekenneenyeza n'okusalawo ku musaala gusookerwako.

Akakiiko ako akayitibwa ‘Minimum Wages Advisory Board' nga kakulirwa eyali omuwanika w'Eggwanika ly'eggwanga omugenzi Chris Manyindo Kassami ne bammemba okuli ; Chris Kanya, Milton Turyasiima, Juliet Nazziwa Musoke , Fred Robert Wapakhabulo Namawa (naye kati mugenzi), Joram Bruno Pajobo ne Dinah Kusasira kaasemba nti omusaala ogusookerwako tegulina kukka wansi wa 136,000/- awatali kufaayo ku mulimu omuntu gw'akola ne bw'abeera mukozi wa waka.

Omubaka Arinaitwe Rwakajara, yayongera amaanyi mu tteeka lino ng'awagirwa bannamateeka, Bannabyabufuzi, ebibiina by'abakozi n'ebibiina by'obwannakyewa ebyenjawulo era ku Lwokubiri lwa wiiki eno nga February 19, 2019, yaggusizza ensonga eno, Palamenti bwe yayisizza ebbago ly'etteeka lya ‘Minimum Wages Bill, 2015'

LWAKI ETTEEKA LIYISIDDWA KATI

Ebbago ly'etteeka lya ‘Minimum Wages Bill, 2015' lyasooka okwanjulwa mu Palamenti mu December, 2015, Sipiika Rebecca Kadaga n'alisindika mu kakiiko akavunaanyizibwa ku kikula ky'abantu, n'embeera z'abakozi akayitibwa ‘Committee on Gender, Labour and Social Development' gye limaze emyaka esatu okutuusa ababaka abaakakiiko akakulirwa Alex Ndeezi bwe baayanjulidde Palamenti lipoota yaabwe ku ntandikwa y'omwezi guno.

EBIRI MU TTEEKA

Etteeka lya ‘Minimum Wages Act 2015' eryayisiddwa Palamenti lisengekeddwa mu bitundu bina ng'ekitundu ekisooka lirambika ensonga lwaki etteeka lireeteddwa, n'ennyinyonnyola y'ebigambo ate ekitundu ekyokubiri kirambika engeri akakiiko akasengeka omusaala ogusooka aka ‘Minimum Wages Board', gye kalina okussibwawo, ani akalonda, b'ani abakatuulako, obuvunaanyizibwa bwabwe n'engeri gye balina okukolamu emirimu gyabwe.

Ekitundu ekyokusatu eky'etteeka lino kikwata ku nkolagana wakati w'omukozi n'omukozesa naddala ku bya kontulakiti, ensasula, embeera abakozi gye bakoleramu n'engeri ey'okutawululamu enkaayana n'obutakkaanya wakati w'omukozi n'omukozesa.

Mu kitundu ekyokuna kikwata ku kalonda omulala omuli; n'ebibonerezo ebiweebwa omukozi oba omukozesa singa amenya obuwaayiro mu tteeka lino.

Etteeka lino likirambika bulungi nti ligenda kukola ku bakozi bonna okuggyako abali wansi w'ebitongole ebyokwerinda nga poliisi, amagye ga UPDF, abakozi ba Gavumenti n'abantu abalala bonna abakozesebwa Gavumenti.

ABANTU BAWAGIDDE ETTEEKA

Arinaitwe Rwakajara, Yagambye nti akakiiko kaali kasembye omukozi atandikirwako asasulwe 130,000 oba ddoola 35 kyokka ne bakiggyamu ne bakirekera akakiiko akanaaba kateekeddwawo ke kaba kagereka omuwendo guno.

Paul Mwiru (Jinja Municipality East), yagambye nti abakozi bangi basasulwa ssente nga ne bwakolera emyaka egiwera tasobola kukyusa mbeera ye.

Yawadde eky'okulabirako nti abakozi abamu basasulwa 2,000/- olunaku wadde ng'ebikozesebwa mu bulamu birinnya buli olukya.

Jimmy Akena (Lira Municipality) yasabye okugereka emisaala kutunuulire n'obudde omuntu bw'amala ku mulimu.

Yawadde eky'okulabirako ky'abakuumi aba seculiko abakola emisana n'ekiro kyokka ne basasulwa kitono ng'ate tebafissa budde bukola kirala.

Yasabye okwongera amaanyi mu bibiina by'abakozi eby'obwegassi bibeere nga bisobola okulwanirira embeera z'abakozi omuli n'okubongeza emisaala.

Kasiano Wadri (Arua Municipality), etteeka lino ligenda kuyamba Bannayuganda ababadde banyigirizibwa nga basasulwa ssente entono bamusigansimbi.

Kyokka yalaze okutya olw'engeri etteeka lino gye bagenda okukakasa nti lissibwamu nkola n'agamba nti bwe bataweebwa liyinza okukoma mu bitabo ng'amateeka agamu agazze gayisibwa.

Richard Othieno (West Budama) agamba nti etteeka teryamusanyusizza kubanga bulijjo omuntu yenna okusasulwa omusaala kisinziira ku busobozi bw'amukozesa.

Yagambye nti atya bwe banaateekawo nti omukozi wa waka asasulwe 200,000/-, buli mwezi abantu batono abajja okusobola okuzibawa.

Etteeka lino singa terikwatibwa n'obwegendereza lituuse okwongera ku bbula ly'emirimu kubanga abakozesa bajja kutya okubeera n'abantu abangi.

Usher Wilson Owere, ssentebe w'abakozi mu ggwanga abeegattira mu NOTU yategeezezza nti ekyakoleddwa Palamenti buwanguzi bwe nnyini kubanga abakozi bamaze ebbanga nga balaajana okubakolera etteeka erinaabawonya okunyigirizibwa.

Agamba nti singa abakozi baweebwa ssente ezeegasa bajja kwongera obukozi era kikendeeze n'obwediimo bw'abakozi obutera okuwulirwa mu ggwanga.

Yasabye Pulezidenti okussa omukono ku tteeka lisobole okutandika okukola.

George William Katumba omusuubuzi w'e Busega yawabudde akakiiko nti bwe kaba kagereka emiwendo kafeeyo okuyisa emiwendo egisoboka okusinziira ku byenfuna by'eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...